TOP

Gwe baatumye kudduuka afiiridde mu mwala

Added 29th December 2019

ABATUUZE ba zooni IV e Mutungo bafunye entiisa oluvannyuma lwa mutuuze munnaabwe eyabadde atumye omwana we okumuleetera ebyokulya ku dduuka okugwa mu mwala n’afa mu nkuba eyatonnye ku Lwokuna.

 Poliisi ng’eteeka omulambo ku kabangali. Mu katono ye mugenzi Angel

Poliisi ng’eteeka omulambo ku kabangali. Mu katono ye mugenzi Angel

Wilson Lwango,Taata w'omwana Angel Owabashabo, 7 eyafiiridde mu mwala yagambye nti, zaabadde ssaawa 4:00 ez'oku makya n'atuma Owabashabo ne muto we Sanchez Kwizera ku dduuka abagulire ebyokulya by'okunywera ku caayi.

Kyokka baabadde bakyali mu nnyumba, Kwizera n'ajja ng'akaaba n'abategeeza nga Owabashabo bw'agudde mu mwala. Lwango yagambye nti yayanguye okugenda mu kifo we yagwiriddemu kyokka yagenze okutuukawo ng'amazzi gaamututte dda.

Kigambibwa nti Owabashabo okugwa mu mazzi yabadde agezaako kuggyayo ngatto ye kyokka n'asirittuka n'agwa mu mwala.

Eric Ndawula, omu ku baagezezzaako okumutaasa yagambye nti bwe baawulidde amawulire baayanguye okumutaasa naye ne kitasoboka kubanga amazzi gaabadde gamaze okumukulukusa. Baayise poliisi n'etandika okunoonya kyokka ne balemwa okumufuna.

Ku Lwokutaano bazzeemu okumunoonya nga bayambibwako balubbira ba poliisi n'abatuuze.

Ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo baazudde omulambo gwe mu mwala oguli mu kitundu ekimanyiddwa nga Canana okuliraana Kasokoso.

Faisal Sebayiga, kkansala w'omuluka gwa Mutungo 1 yategeezezza nti emyala gy'e Mutungo giri mu mbeera mbi era baategeezaako KCCA naye tennaba kwanukula mulanga gwabwe.

Yakuutidde abazadde okufaaayo okukuuma obulungi abaana baabwe naddala mu kiseera kino eky'enkuba olw'embeera ey'emyala mu kitundu.

Omumyuka w'omwogezi wa Poliisi owa Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti baafunye amawulire g'omwana okugwa mu mazzi ne basindika abaserikale okumunoonya, omulambo gwe ne baguzuula ku Lwokutaano nga December 27, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...