TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka abaagobeddwa mu Palamenti tebamanyi kye bazzaako

Ababaka abaagobeddwa mu Palamenti tebamanyi kye bazzaako

Added 29th December 2019

ABABAKA ba palamenti mukaaga abaagobeddwa kkooti etaputa konsitityusoni bakyatabuddwa kye bazzaako.

 Basalirwa ne Tumwesigye

Basalirwa ne Tumwesigye

Bya KIZITO MUSOKE ne MARGRET ZALWANGO

Ababaka okuli; Asuman Basalirwa (Bugiri), Dr. Elioda Tumwesigye (Sheema), Hashim Sulaiman (Nebbi) Tarsis Rwaburindore Bishanga (Ibanda), Patrick Ocan (Apac) ne Peter Lokii Abrahams(Kotido) bali mu kattu.

Tebalina mukisa gusobola kujulira butereevu nga bawakanya ensala ya kkooti. Essaala yaabwe eri nti akakiiko k'ebyokulonda ne ofiisi ya ssaabawolereza wa Gavumenti bijulire olwo basobole okufuna omukisa okwewozaako.

Basalirwa yagambye nti yabadde tannaba kusoma nsala ya kkooti mu bujjuvu ate nga n'omusango abadde tagugoberera.

Yagambye nti takkirizibwa kujulira kuba tabadde ku bavunaanibwa ku musango. Eky'obutaweebwa mukisa guwulirwa yagambye nti, basobola okukyesigamako ng'emu ku nsonga kwe basobola okusinziira okujulira.

Munnamateeka Samuel Muyizzi omukugu mu bya Ssemateeka yagambye nti ssinga Gavumenti n'akakiiko k'ebyokulonda tebajulira, ababaka bajja kufiirwa ebifo byabwe ate nga kkooti yalagidde okulonda kuddibwemu lumu mu 2021.

Akakiiko k'ebyokulonda kalina kusooka kuluhhamya nsalo za konsitityuwensi mu bbanga lya myezi kkumi. Eric Sabiiti, munnamateeka w'akakiiko k'ebyokulonda yakkiriza nti ensala ya kkooti baagifunye era nga bagenda kutuula bagyekeneenye.

Oluvannyuma ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda, omulamuzi Simon Byabakama ajja kuvaayo abuulire eggwanga we bayimiridde ku nsonga eno.

Hellen Kaweesa, ayogerera Palamenti yategeezezza nti baabadde bamaze okufuna ensala y'omusango kyokka nga tebannaba kwekkenneenya bigirimu.

ENSALA Y'ABALAMUZI

Abalamuzi abaakulembeddwa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, Kenneth Kakuru, Fredrick Egonda-Ntende, Cheborian Barishaki ne Christopher Madrama bakkaanyizza bonna nti ababaka baalondebwa mu bukyamu.

Baategeezezza nti, akakiiko k'ebyokulonda tekaatuukiriza buvunaanyizibwa bwako bwe kaalemererwa okulaga ensalo za munisipaali we zirina okusalira nga bazitondawo.

Akakiiko k'ebyokulonda kaalagiddwa okukozesa emyezi 10 kalambule bulungi ensalo za konsitityuwensi zonna ng'okulonda okuddako tekunnaba kubaawo.

Kkooti yalagidde akakiiko k'ebyokulonda okuwaayo obujulizi bwonna obukwata ku konsitityuwensi zonna mu bbanga lya mwaka gumu ng'okulonda okuddako tekunnabaawo nga bwe kirambikiddwa mu nnyingo ya 294 ne 63 (1) eya konsitityusoni y'eggwanga.

Wadde nga Palamenti erina obuyinza okusalamu ebitundu nga bw'ebeera eyagadde, kkooti yategeezezza nti akakiiko k'ebyokulonda ke kalina obuvunaanyizibwa okulaba ng'ebitundu ebitondebwawo bikiikirirwa mu Palamenti.

Kkooti yalagidde akakiiko k'ebyokulonda okusasula omuwaabi ekitundu kya ssente kw'ezo z'asaasaanyizza mu musango.

Ensala ya kkooti eddiridde eyali omubaka wa Bufumbira East, Eddie Kwizera okuwaabira akakiiko k'ebyokulonda ne Ssaabawolereza wa Gavumenti ng'ayita mu munnamateeka Wandera Ogalo ng'ayagala ebifo by'ababaka 83 bisazibwemu ng'agamba nti byalondebwa mu bukyamu.

Omusango yaguwaaba mu May 19, 2019. Munisipaali ezaasaziddwamu zaatondebwawo mu 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka omulonde Kawalya

Omubaka omulonde owa Lubaga...

Omubaka omulonde owa wa Lubaga North mu palamenti, Abubaker Kawalya, obukulembeze bwe yabutandikira mu ssomero...

Tomusange

Omuzannyi akuba munne omupi...

AMATEEKA g'omupiira agaawandiikibwa gali 17, wabula wayinza okubaawo ekintu kyonna (ekisobyo oba nedda), ng'okutuuka...

Ssenga

Omusajja alina omukazi omul...

OMUSAJJA gwe njagala tanfaako simanyi oba alina omuwala omulala nkole ki? Mwana wange mu bikolwa by'omusajja...

Byarugaba

Bakutte 3 ku by'okutemula s...

POLIISI y'e Rukiga ekutte abantu basatu abagambibwa okwenyigira mu ttemu lya ssentebe w'ekyalo eyanenyezza abavubuka...

Kyagulanyi (ku ddyo), Rubongoya ne Nyanzi ku offiisi za NUP e Kamwokya eggulo.

Kiki kye kitegeeza Kyagulan...

Kiki kye kitegeeza Kyagulanyi okuggyayo omusango mu kkooti? Bannamateeka boogedde: Munnamateeka Male Mabirizi...