TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga 10 KCCA z'egenda okussaako essira mu 2020

Ensonga 10 KCCA z'egenda okussaako essira mu 2020

Added 29th December 2019

LOODI Meeya wa Kampala, Erias Lukwago alangiridde ensonga 10 zaagenda okussaako amaanyi mu mwaka 2020.

 Kitaka (ku ddyo), Kaujju (ayimiridde) nga bali mu lukiiko mwe baalangiridde eby’okukola.

Kitaka (ku ddyo), Kaujju (ayimiridde) nga bali mu lukiiko mwe baalangiridde eby’okukola.

Wakati mu kussa enongoosereza mu tteeka lya Kampala, yalabudde nti agenda kwanganga oyo yenna agenda okumusimbira ekkuuli.

Ne dayirekita wa KCCA, Andrew Mubiru Kitaka yalangiridde ebimu ku bikoleddwa mu mwaka oguwedde omuli: enguudo, amataala, oluguudo lwa Namirembe, obutale nga ak'e Kasubi akalindiriddwa okutongozebwa n'ebirala.

Ebigenda okukolebwako mulimu: Bbaasi: Kitaka yatadde nnyo amaanyi ku kutereeza entambula mu Kampala n'agamba nti Gavumenti yasazeewo bbaasi zitandike okutambuza abantu mu 2020 oluvannyuma lw'olukiiko lwa baminisita olukubirizibwa Pulezidenti Museveni okukiyisa.

Ensonga zino kati ziri mu mikono gya Minisita w'emirimu n'entambula, Gen. Edward Katumba Wamala, minisita wa Kampala omubeezi Benny Namugwanya ne KCCA batandike okuziteeka mu nkola.

Yategeezezza nti ekitongole kya Gavumenti ekya ‘Uganda Development Cooperation' kyakwasibwa obuvunaanyizibwa okutereeza emitendera egigenda okugobererwa kkampuni ya TONDEKA METRO egenda okuziddukanya.

Mu nteekateeka ya bbaasi, TONDEKA METRO egenda kukolagana ne kkampuni ya Ashok Leyland ekola bbaasi okuva e Buyindi ezibaguze ate endala ezireete bazikolere mu Kampala nga Ashok Leyland ekolagana ne kkampuni ya KIIRA Motors mu Kampala.

Bbaasi zisuubirwa okutambuza abasaabaze abasoba mu bukadde bubiri buli lunaku ku ssente eziri wansi .

Kitaka yategeezezza nti bagenda kukola ku luguudo lwa bbaasi ga tekwatibwa bulipagano .

Ebisale bigenda kuba bya kaadi ng'omusaabaze wa ddembe okusasula kaadi y'olunaku, wiiki oba omwezi ng'emutambuza okwawukana ku takisi .

AMATAALA:

Ku by'amataala g'omu Kampala, Lukwago yategeezezza nti KCCA yaweereddwa ensimbi za Bungereza [Euro] 800,000 ebunyise amasannyalaze ga Sola mu Kampala era tayagala kuddamu kulaba ku nzikiza yonna mu kibuga mu mwaka omupya.

Yagasseeko nti n'enteekateeka y'okutereeza enzimba y'ebizimbe n'amayumba mu Kampala egenda kutandikibwa.

Balonze ebifo bitaano naye nga bagenda kutandikira ku bifo bisatu okuli Kololo, Makerere ne Nakasero okwewala omugotteko gw'amayumba.

EMYALA:

Kampala terina pulaani egobererwa okukola emyala. Okukola pulaani kyabalirirwa nga KCCA yetaaga obuwumbi obusoba mu 800 era ayagala omwaka guno asabe palamenti eyise ssente ezo bazibawole emyala gikolebwe.

Ayagala emyala mwenda okuli: Nakivubo omunene, Lubigi, Nakamiro, Kaliddubi, Nalukolongo, Mayanja ne Kansanga zikolebwe.

OKUFUNIRA BANNAKAMPALA EBIFO:

Ayagala obutale obwatandikibwako okuzimbibwa bumalirizibwe abantu bafune we bakolera era akatale k'e Kasubi kagenda kukwasibwa abasuubuzi, ak'e Busega kamalirizibwe, ak'e Kitintale kakolebwe era ayagala KCCA ezimbe n'obutale obulala bubiri okwongera ku bifo abantu we bakolera.

KASASIRO:

Ayagala buli mwaka KCCA egule emmotoka eziyoola kasasiro waakiri ttaano n'ettaka ly'e Ddundu lye baagula likulaakulanyizibwe kakasiro bamulongoseze eyo ate n'ekibuga kyeyongere okuba ekiyonjo nga Bannakampala beewala okusuula kasasiro mu myala.

ENGUUDO

Lukwago yagambye nti Kampala yenna aweza obuwanvu bw'enguudo bwa kirommita 2100 eziriko koolansi kyokka 608 zokka ze ziriko ebifo okutambulirwa ab'ebigere. Ayagala enguudo zeeyongere okukolebwa ne Gavumenti eyongere KCCA ssente ezikola enguudo okusinga ku buwumbi 32 kati ze babawa.

Ayagala Pulaani namutayiika egenda okulaga entambula ey'olukale omuli bbaasi, eggaali y'omuka , obumotoka obuyita waggulu byonna bigenda kutambula bitya mu Kampala.

AMATEEKA

Amateeka mangi agetaagibwa okulung'amya enkola y'emirimu mu Kampala era ayagala gatandike okukola mu mwaka omupya. Mu gano mulimu agafuga kkamera mu Kampala, okusimba mmotoka ku nguudo , okutereeza abatakisi, aba boodabooda, okusimba emiti, okutuuma amanya g'enguudo n'ebirala.

EBYOBULAMU

Ayagala amalwaliro gongere okutereera Bannakampala bajjanjabibwe bulungi. Yagambye nti Kampala teriimu kaabuyonjo zituukagana na mutindo gwa Kampala era asuubira bagenda kuzimba kaabuyonjo Musanvu ziyambeko.

EBYENJIGIRIZA:

Ayagala okutumbula ebyenjigiriza by'abaana naddala ng'amasomero agaliko amabaati ga asbestos gagibwako.

TAKISI

Lukwago yategeezezza nti ayagala abaddukanya takisi bayambibwe okutereeza empeereza yaabwe n'okuzimba paaka zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono