TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana 3 bajjiiridde mu nnyumba nga maama ali mu bbaala

Abaana 3 bajjiiridde mu nnyumba nga maama ali mu bbaala

Added 29th December 2019

MAAMA azirikidde mu bbaala e Mbikko oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti, abaana be basirikkidde mu muliro ogwakutte ennyumba yaabwe.

Ennyumba eyakutte omuliro

Ennyumba eyakutte omuliro

Maama ono yalese abaana be bana mu nnyumba n'agenda ne mikwano gye okunywa omwenge e Mbikko.

Kigambibwa nti, yasimbudde okuva mu muzigo gwe e Nakimboledde mu divizoni y'e Wakisi mu disitulikiti y'e Buikwe ku ssawa 12:00 ez'akawungeezi ku Lwokuna n'aleka ng'alagidde muwala we omukulu Martha Kisakye 12, okulabirira batoobe.

Kisakye yategeezezza nti, maama waabwe Ritah Nabbujje bwe yasimbudde awaka akawungeezi ku Lwokuna, yaleka amulagidde alabirire batoobe abasatu nga ku bano kuliko; n'ow'emyezi omukaaga.

Ku ssaawa 6:00 ogw'ekiro omuliro gwakutte ennyumba abaana mwe bali nga maama waabwe Nabbujje tannakomawo ate nga Kisakye yabadde afulumye ng'agenze ku ndongo eyabadde ku kyalo. Abatuuze bakoze butaweera okutaasa abaana abasatu wabula omu ye yafiiriddewo ate ababiri ne baddusibwa mu ddwaaliro e Jinja nga bali mu mbeera mbi.

Kisakye yategeezezza nti, ku ssaawa 2:00 ez'ekiro muto we Riyan Nakibirango ow'emyezi omukaaga ye yamwebasa kyokka nga mu nnyumba mulimu akataala aka tadooba era yakalese kaaka wabula ng'akatuuzizza mu mukebe.

"Ku ssaawa 6:00 ez'ekiro abantu bankimye ku ndongo nti, ennyumba yaffe ekutte omuliro era bwe nnatuuse ne nzigulawo, abantu abasinga baatidde okuyingira wabula nayingidde okubataasa naye Trinity Higenyi Trinity yabadde amaze okufa ate bo ababiri okuli Yonah Higenyi 8, ne Riyan Nakibirango ow'emyezi omukaaga baabadde mu mbeera", Kisaakye bwe yategeezezza.

Kisaakye yagasseeko nti, maama amawulire g'omuliro gaamusanze ne mikwano gye e Mbikko era ye yazirikiddewo ne bamutwala mu ddwaaliro e Jinja gy'afunira obujjanjabi.

Abatuuze baategezeza nti, omuliro gwavudde ku tadooba gye baalese ng'eyeka n'ekwata akatimba k'ensiri ekyavuddeko omuliro okutuntumuka.

Nabbujje yayawukana ne bba nga kati omusajja abeera Mafubila mu disitulikiti y'e Jinja. Polisi yatuuse mu maka gano era n'ekola okunoonyereza kyokka abatuuze baanenyezza Nabbujje okuleka abaana abato mu nnyumba okuli n'ow'emyezi omukaga ye n'agenda okucakala.

Amyuka akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango e Njeru, Isiko Balisanyuka yavumiride abazadde abalagajjalira abaana n'abo abaleka abaana mu nyumba ne bagenda okucakala.

Balisanyuka yagambye nti, abaana ababiri abaasimattuse bali mu ddwaaliro e Jinja ate omulambo gwa Trinity gwatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Jinja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...