TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Kibuuka asabidde emirembe mu ggwanga nga tweteegekera okulonda mu 2021

Bp. Kibuuka asabidde emirembe mu ggwanga nga tweteegekera okulonda mu 2021

Added 1st January 2020

Bp. Kibuuka asabidde emirembe mu ggwanga nga tweteegekera okulonda mu 2021

 Bp. Kibuuka ng'asaba Abakkiriza

Bp. Kibuuka ng'asaba Abakkiriza

OMUKABIRIZI w'e Kanisa ya Evangelical Orthodox mu Uganda, era nga y'akulira ekifo kya Mamre International Prayer Centre, Bishop Jacinto Kibuuka  asabye waleme kubaawo kuyiwa musaayi mu kulonda okubinda binda okwa 2021.

Bishop Kibuuka okwogera bino  yabadde mu kusaba kw'okuyita mu kiro ekiyingira omwaka 2020 wali ku Mamre International Prayer Center e Namugongo Jjanda n'alangirira omwaka 2020  ogujjudde amazima n'okuganja era nga Katonda yennyini y'agenda okugwekwatiramu.

Okusaba kuno okwetabiddwamu nnamungi w'abantu okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo, Bishop Kibuuka mwe yasinzidde n'asaba buli muntu waali okukuuma emirembe, okwewala ebikolwa eby'effujjo, nga balonda abakulembeze be baagala waleme kubaawo mbeera ya lutalo oluyinza okuviirako eggwanga okudda emabega.

Omwaka 2020 gwayingiddwa mu maanyi ageekitalo wakati mu kusaba n'okusumululwa awamu n'okutulisa ebiriroliro mu bbanga ng'akabonero ak'obuwanguzi.

Wakati mu kusaba okwamanyi, Bishop Kibuuka yalagudde eri ekibiina nga bwe watali muntu yenna agenda kuswazibwa , Mukama mwetegefu okugaziya ensalo zaabwe, okufuna ebyo bye baludde nga bayaayaanira awamu n'okuddizibwa ebyo byonna ebyabaggybwako bikubisibwemu emirundi Musanvu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono