TOP

Museveni ayogedde ebikulu ebinaakolebwa mu 2020

Added 1st January 2020

PULEZIDENTI Museveni asibiridde Bannayuganda entanda y’omwaka omupya n’ayogera ku bigenda okussibwako essira mu 2020 okusitula embeera z’abantu n’okunyweza ebyokwerinda.

 Pulezidenti Museveni ng’awa obubaka bw’omwaka 2020.

Pulezidenti Museveni ng’awa obubaka bw’omwaka 2020.

Mu bigenda okukolebwa mu 2020, essira Museveni alitadde ku byokwerinda n'obutebenkevu munda mu ggwanga n'alaga bw'ateeseteese okugogola poliisi agiggyemu ‘ennyanja envundu' zonna ayingizeemu abavubuka embulakalevu abali ku mulamwa.

Ng'oggyeeko ebyokwerinda, Museveni yayogedde ku kulwanyisa omuze ogw'okusengula abantu ku ttaka, okukangavvula aboonoona obutonde bw'ensi, ebyobulimi, ebyenjigiriza, obutale n'omutindo gw'ebikolebwa.

Wabula Museveni teyayogedde ku bintu ebimu naddala ebisuubirwa okwetikka omwaka 2020.

Mu bimu ku by'ataayogeddeko mulimu:

1 Ebyobufuzi naddala okulonda kwa 2021 ebigenda okutandika mu mwaka guno ng'ebibiina byobufuzi bitegeka enkung'aana ttabimuruka, okulonda okw'obumyufu gattako n'akakiiko k'ebyokulonda okutegeka okwewandiisa n'okukuba kampeyini ez'okulonda kwa Pulezidenti, ababaka ba Palamenti, bassentebe ba LC5, bammeeya, LC3 okutuuka ku LC1.

2 Enkolagana ya Uganda n'amawanga amalala naddala Rwanda teyakooneddwaako so nga ensonga eno y'emu ku byetisse omwaka 2019.

3 Amafuta ga Uganda agakyagaanidde mu ttaka, Pulezidenti nago teyagoogeddeko so nga essuubi lya Bannayuganda mu byenfuna lyesigamye nnyo ku mafuta.

4 Embeera y'ebyenfuna by'eggwanga eserebyemu olw'emiwendo okulinnya n'ebintu Uganda by'etunda ebweru okukendeera nayo Pulezidenti teyagyogeddeko.

5 Omutendera ogwa Middle Income Status, Museveni gwe yasuubiza nti Uganda egenda kugutuukako mu 2020, era teyagisiinyizzaako.

6 Ebya Kampala, nabyo Museveni teyabikoonyeeko so nga yaakamala okussa omukono ku tteeka erisuubirwa okumalawo obugulumbo wakati wa bannabyabufuzi n'oludda olw'ebyekikugu.

7 Amagye okuva ku nnyanja nakyo teyakikoonyeeko wadde nga Palamenti yayisizza ekiteeso UPDF eyamuke ennyanja.

AYAGALIZZA BANNAN SI OMWAKA OGW'ESSANYU

Museveni yayogedde eri eggwanga eggulo akawungeezi ng'ebula ssaawa busaawa okuyingira omwaka omupya n'akulisa Bannayuganda omwaka omukadde n'okubaagaliza omupya ogujjudde ebirungi n'okwesiima. "Omwaka omukadde gubaddemu ebirungi n'ebizibu.

Ebimu ku bizibu ly'ettemu omufiiridde abantu nga Nagirinya, abantu abafiiridde mu mataba n'okubumbulukuka kw'ettaka," bwe yagambye.

Pulezidenti yayogedde ku kussa mu nkola enteekateeka za mirundi 10 ze yayanjulira eggwanga bwe yayogera eri Palamenti nga June 20, 2017.

Yagambye nti bukya ayogera eri eggwanga ku nteekateeka 10 ez'okutereeza ebyokwerinda by'eggwanga, ebyakassibwa mu nkola biri ebitundu 30 ku 100 byokka, wabula enjawulo weeri yaamaanyi.

‘ENNYAANYA ENVUNDU' MU POLIISI ZAAKU GOBWA

Yawadde ekyokulabirako nti mu ggandaalo lya Ssekukkulu, abantu 21 bokka mu Uganda yonna be baafudde ate ng'abasinga baafiiridde mu busambattuko obw'omu maka, effujjo eriva ku ttamiiro era abeenyigidde mu ttemu baakwatiddwa.

Yannyonnyodde nti akizudde ebivaako obuzzi bw'emisango ng'okusingira ddala buli bwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuyimbi Geosteady asiramuse

OMUYIMBI Geosteady ng'amanya amatuufu ye George Kigozi asiraamuse kati ye Hassan Kigozi era ne bamutooza ne Shahaduh...

Rebecca Kadaga awadde Gavum...

SIPIIKA wa Palamenti Rebeeca Kadaga awadde gavumenti amagezi okwongera amaanyi mu bamusiga nsimbi enzalwa eza wano...

Biden ng’ateeka omukono ku gamu ku mateeka amapya ge yayisizza nga yaakamala okulayira.

BIDEN: Ebikyuse mu ssaawa 1...

DONALD Trump yatunuulidde amaka g'Obwapulezidenti aga White House nga tegalekeka kyokka ng'akadde kamuweddeko n'akwata...

Putin owa Russia

Abakulembeze bayozaayozezza...

ABAKULEMBEZE b'amawanga bayozaayozezza Pulezidenti Museveni olw'okuddamu okulondebwa ku bwapulezidenti bwa Uganda....

Pulezidenti Museveni ng’ayogera eri ab’e Lyantonde eggulo.

Pulezidenti Museveni avudde...

PULEZIDENTI Museveni akomeddewo mu maanyi okuva mu makaage e Rwakitura gy'abadde okuva lwe yawangula akalulu okujja...