TOP

Paapa Francis yeetonze 'okukuba omukazi'

Added 2nd January 2020

PAAPA Francis akozesezza mmisa y’Olusooka omwaka okwetondera omukazi gwe yakubye empi bbiri ng’amulanga omusikaasikanya.

Paapa yasinzidde mu mmisa eyabadde mu kibangirizi kya St. Peters Square e Vatican n'ategeeza nti yeetonda olw'ekikolwa ky'obusungu kye yakoze.

Yayongedde nti yalaze ekyokulabirako kibi era abakyala okufaanana n'abantu abalala balina okuyisibwa mu ngeri eyeekitiibwa.

Paapa Francis akulira Obukatoliki mu nsi yonna obuwezaamu abakkiriza abasoba mu buwumbi bubiri mu nsi yonna yatabuse ku Lwokubiri lwa wiiki eno.

Yabadde ayita mu kibangirizi kya St. Peters's Square nga musanyufu ddala ng'agenda abuuza ku baana n'abalamazi abakwatirira mu kifo kino okulaba ku Paapa, okulambula n'okusaba.

Paapa yabadde ayolekedde mu kifo ekiyitibwa ‘Scene of Nativity' wakati mu Vatican.

Abaana n'abalamazi obwedda abakwata mu ngalo nga bw'abawa omukisa.

Yabadde amaliriza okweyongerayo omukazi n'amubaka omukono ng'akozesa amaanyi n'amusika n'amukomyawo ayongere okubabuzaako ate n'amulemera mu kibatu.

Kino kyanyiizizza Paapa n'amukuba empi bbiri entonotono ku mukono n'amuta ne yeeyongerayo.

Waliwo abaakutte ka vidiyo kano ne kasaasaanyizibwa era kigambibwa nti kaakoze ebyafaayo ng'akakyasinze okusaasaana mu byafaayo bya ‘social media'.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...