
Eyattiddwa ye Patrick Owiny era amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, abavubuka bano baabadde bakoze kye bayita ‘eggaali' nga bagenda babba buli muntu gwe basanze.
Abeebyokwerinda baabasanze okuliraana Total e Nakulabye era mu kanyolagano nga bagezaako okubakwata, omu yakubiddwa amasasi ate abalala abagambibwa okusoba mu 30 ne badduka.
Abaabaddewo baategeezezza nti, ebbiina ly'abavubuka lyavudde mu zooni 7 e Nakulabye nga bakola effujjo we baagwiridde mu baserikale abaabadde balawuna ne babafubutula wabula omu n'ayimirira n'awanika emikono owa LDU n'amukuba amasasi mu mugongo.