TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyakola ebibumbe by'e Namugongo n'e Mmengo afudde

Eyakola ebibumbe by'e Namugongo n'e Mmengo afudde

Added 2nd January 2020

OMUVUBUKA Fred Kigozi Lubwama 36, eyabumba ebibumbe by’ebika bya Buganda ebiri ku luguudo Kabakanjagala e Mmengo era eyabajja ebifaananyi by’abajulizi ebiri mu myuziyamu e Namugongo, mmotoka emulinnye ng’ali ku ppikippiki n’emukutulako omutwe.

 Ebimu ku bibajje Lubwama bye yakola mu myuziyamu a Namugongo.

Ebimu ku bibajje Lubwama bye yakola mu myuziyamu a Namugongo.

Yabadde avuga ng'atuuka e Nakiyanja Namugongo mmotoka weyamutomeredde okusinziira ku kojja we, Benon Lutaaya.

Lutaaya yategeezezza nti akabenje kaabaddewo akawungeezi k'Olwokubiri, Lubwama yabadde avuga ppiki okudda mu maka ge e Namubiru Mukono.

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Lubwama era Omwogezi w'Obwakabaka, Noah Kiyimba yagambye nti, Lubwama y'omu ku baaweebwa omulimu gw'okubumba ebibumbe by'ebika eby'asimbibwa ku bibanja by'abyo ku luguudo Kabakanjagala okutuuka ku Bulange.

Obwakabaka bwasindise Minisita w'Obuwangwa n'ennono, David Kyewalabye Male okukubagiza abaffamire ya Lubwama.

Lubwama abadde abajja ebifaananyi n'okubumba, yeeyabajja ebifaananyi ebiraga egeri Abajulizi ba Uganda gye baatulugunyizibwamu ebiri mu myuziyamu ku kiggwa ky'Abajulizi ku ludda lw'Ekkanisa ya Uganda e Namugongo.

Lutaaya yagambye nti, omugenzi abumbye ebibumbe bingi mu ggwanga n'ebweru walyo okuli ebiri ku kkooti ewozesa emisango gy'obusuubuzi mu Kampala

Alese abaana basatu ne Nnamwandu Christine Ojambo era yaziikiddwa ku Lwokuna e Namubiru ewali amaka ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...