TOP

Bakubye essasi alumbye famire okugisanjaga

Added 2nd January 2020

ABATUUZE b’oku Kaleerwe mu Zooni ya Kiggundu baaguddemu ekikangabwa omusajja bwe yalumbye amaka ga munnaabwe n’agezaako okubatemula.

 Bonny ng’avuyira mu bisooto. Awali akasale essasi we lyakutte.

Bonny ng’avuyira mu bisooto. Awali akasale essasi we lyakutte.

Shakirah Asiimwe yategeezezza ng'omwaka bwe yaguyingidde mu ntiisa ne famire ye omusajja eyategeerekese nga Bonny bwe yabalumbye n'ennyondo ng'awera okubatta bonna ye n'abaana be 5.

Agamba nti yasoose n'abiyita byakusaaga kuba Bonny alina baganda be okumpi ne w'abeera era ng'abadde ajjawo n'asaaga n'abaana be.

Wabula kyamubuuseeko Bonny bwe yatandise okukoona enzigi z'ennyumba n'amadirisa n'ennyondo ng'ayagala okubayingirira.

Agamba nti baakubye enduulu eyasombodde baliraanwa ne bamusanga ng'amenye oluggi lw'eddiiro n'atandika okwonoona ebintu by'omu nnyumba okwabadde firiigi, ttivvi n'ebintu ebirala.

Baagezezzaako okumuyimiriza kyokka ng'abamutuukirira ayagala kubasala n'akambe ke yabadde alina.

Oluvannyuma poliisi yatuuse era bwe yeeremye okukkakkana ne bamukuba essasi mu ntumbwe n'agwa ku ttaka.

Ssentebe w'ekitundu, Paul Kibuuka yategeezezza nti obuzibu buva ku bavubuka mu kitundu okwettanira okukozesa ebiragalaragala n'ebakola effujjo.

Yagambye nti kyategeddwa oluvannyuma nti Bonny yabadde anyweddemu ne ku bitamiiza.

Yasabye gavumenti okwongera okumyumyula amateeka ku bantu abakozesa ebiragalalagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono