TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuvubuka yeekyaye ne yeefumita ekiso kujula kwetta!

Omuvubuka yeekyaye ne yeefumita ekiso kujula kwetta!

Added 2nd January 2020

OMUVUBUKA avudde mu mbeera e Kasubi n’abaka akambe n’akeesogga emirundi egiwera mu kifuba mu lujjudde lw’abantu.

 Abadduukirize nga bataasa obulamu bw’omuvubuka ono.

Abadduukirize nga bataasa obulamu bw’omuvubuka ono.

Zaabadde ssaawa 12:30 ez'akawungeezi omuvubuka ono eyategeerekese nga Sadic Ndizigimaana bwe yagenze ku katale akamanyidwa nga Kawangi e Kasubi n'alumba omudaala gwa chapati ogwabadde okumpi n'abaka akambe akaabadde ku kimeeza n'atandika okukeesogga mu kifuba emirundi egiwera.

Okusinziira ku David Kateregga ow'ebyokwerinda mu Kasubi zzooni 4, ono olwamaze okwefumita ne yesuula mu luguudo emmotoka zimutomere afe.

Wano abadduukirize we baamusangidde nga asigaddeko kikubamukono kyokka nga taliiko kigambo kyonna ky'ayogera okuggyako okwogera amannya ge.

Abasawo okuva mu kalwaliro akaliraanyeewo baamuwadde obujjanjabi obusookerwako oluvannyuma n'ateekebwa ku kabangali ya poliisi ne bamuddusa mu ddwaaliro ng'ataawa.

Okusinziira ku Brown Kanyamunyo atwala ebyokwerinda mu muluka gw'e Kasubi omuvubuka ono tamanyiddwa mu kitundu. Yavumiridde ekikolwa kye yeetuusizzaako.

Kanyamunyo yakubirizza abantu okuyiga okubuuliranga ku bantu be beesiga oba abakulembeze ku bizibu bye baba balimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...