TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obululu bw'ekikopo kya Stanbic Uganda Cup bukwatiddwa

Obululu bw'ekikopo kya Stanbic Uganda Cup bukwatiddwa

Added 2nd January 2020

FUFA n’abavujjirizi b’empaka za Stanbic Uganda Cup bakutte obululu bwa ttiimu 64 ezigenda okutandika okweriga okulwanira ekikopo kya 2019/2020 zisobole okukiikirira eggwanga mu mpaka za Africa.

Mu bululu obukwatiddwa enkya ya leero ku Serena Hotel, ttiimu zino e 64 zisamba wakati wa January 20-24 ku bisaawe ebitali bimu mu mpaka ez'okusirisizaawo.

Abavujjirizi aba Stanbic Uganda Cup balangiridde nga bwe bwongezza ku nsimbi ze batadde mu mpaka zino okuva ku bukadde 120 omwaka oguwedde nga kati bataddemu 132.

Omuwanguzi waakufuna obukadde 40 ate anaakwata ekuokubiri afune 20.

Abanaaviirako ku Semifinal baakufuna 12 buli omu, ku kwota obukadde mukaaga ate abanaakoma ku luzannya lwa ttiimu 16 baakufuna obukadde busatu buli omu.

Pulezidenti wa FUFA Ying. Moses Magogo y'akulidde okukwata akalulu kano ng'abaakiwangula omwaka oguwedde aba Proline FC akalulu kabasudde ku Katwe United eya Allan Ssewanyana eyaloopa Magogo mu FIFA bya tikiti za World Cup ya 2014.

KCCA FC abaakakiwangula emyaka 10 kabasudde ku Katida FC esambira e Kamwokya ku Police so nga bannabwe bwe benkanya emyaka gyakyo aba Express FC batandika na kulyalira St. Mary's ey'omu kibinja kya Kampala region.

Ttiimu za Super 16, 18 eza Big League n'endala 30 ez'ekibinja ekisooka ze zigenda okuvuganya.

Eza Super endala nazo zeesunga kikopo nga SC Villa ekyalira Super Eagles e Gulu, Vipers ekyalira Kajansi United, Police FC eri ku Administration eye Tororo, Onduparaka eri ne Bugamba FC, URA eri ne Lugazi Municipal, Kyetume eri ne San Siro e Mbale, Bright Stars ne Koboko Rising Stars FC ate BUL FC ekyalira Mvara FC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu