TOP

Amagye gakutte abazzeemu envuba embi

Added 4th January 2020

Amagye gakutte abazzeemu envuba embi

 Ebitimba bya kokota ebyawerebwa abamu ku bakwate bye baasangiddwa nabyo.

Ebitimba bya kokota ebyawerebwa abamu ku bakwate bye baasangiddwa nabyo.

OLUVANNYUMA lwa Palamenti okuyisa ekiragiro amagye agalwanyisa envuba embi ku nnyanja okugyamuka, nate abavubi abamu bazzeemu okwenyigira mu nvuba embi ekyawalirizza amagye okuddamu okubakwata.

Bano baakwatiddwa n'obutimba bwabwe obutakkirizibwa mu mateeka mu kikwekweto ekyakoleddwa mu ggandaalo lya Ssekukkulu.

Ekikwekweto kino ekyakulembeddwaamu Lt. Kenneth Tashobya ku mwalo gw'e Ddimo, Malembo, Ssonzi, Bbaale ne Mutemante mu disitulikiti y'e Masaka kyalese abavubi mukaaga bakwatiddwa.

Robert Ssenkubuge omu ku bakwate yategeezezza nti, ekitimba kye yakwatiddwa nakyo yali yakikukulira era bwe yawulira ekiragiro kya Palamenti kwe kukiggyayo era byonna bye baabadde nayo amagye gaabibawambyeko.

Embeera eno yaviiriddeko abakulira ekibiina ekigatta abavubi n'abakozesa ennyanja mu ggwanga (AFALU) okukuba olukiiko olwamangu ku mwalo gw'e Ddimo nga lw'etabiddwaamu abasuubuzi n'abavubi mu Kyotera n'e Masaka okusalira embeera eno amagezi.

Mu lukiiko mwe baalabulidde Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga okwesonyiwa ensonga z'ennyanja okuggyako ng'amaze okutuuka ku myalo bo abali mu mulimu bamunnyonnyole kye bayitamu.

Richard Kimera akikulembera e Masaka yategeezezza nti, ebyobufuzi mu nsonga zino bye bivuddeko obuzibu nga basuubira ntiPulezidenti ajja kutendewalirwa agobe amagye olw'akalulu akasembedde bo kye baawakanyizza. Baakolokose ababaka ba Palamenti be balumiriza okwekobaana n'abenyigira mu nvuba embi okubalwanyisa olw'enguzi gye babawa.

Baasabye wabeewo ekikolebwa kw'abo abaserikale ssekinnoomu abazze balinnyirira eddembe ly'obuntu mu bikwekweto.

Abavubi n'abakola emirimu gya lejjalejja ku mwalo newankubadde baasiimye UPDF okuzza ebyennyanja mu Nnyanja, baasabye gakendeeze ku kubatulugunya ne basaba ne Gavumenti etereeze emiwendo gy'ebyennyanja egigwa buli kiseera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...