TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nazirikira mu nsiko Besigye n'amponya okufa-Museveni

Nazirikira mu nsiko Besigye n'amponya okufa-Museveni

Added 5th January 2020

Nazirikira mu nsiko Besigye n'amponya okufa-Museveni

 Pulezidenti Museveni ng'atambula okuva e Galamba

Pulezidenti Museveni ng'atambula okuva e Galamba

PULEZIDENTI Museveni agambye nti Col. Dr. Kiiza Besigye yataasa obulamu  bwe lwe yazirika nga balwana olutalo olwaleeta gavumenti eno mu buyinza.

Gen. Museveni agamba nti yali alinnya olusozi lw'e Bulaga mu  January wa 1985 oluvannyuma lw'abayekera be okuwamba Kabamba n'azirika olw'okutambuza ebigere ebbanga eddene kyokka Besigye n'amutaasa bwe yamuwa eddagala eryamuzza engulu n'addamu okutambula. Besigye yali musawo  wa Museveni mu kiseera ekyo.

 ‘'Bwe nnali nninya olusozi lw'e Bulaga (n'abayekera bange) nerabira amagezi ge nali nfunidde e Kalagwe - Tanzania nti bw'oba olinnya olusozi okwata omuggo. era olinnya owummulamu. Era ekyavaamu kwali kuzirika wabula Dr.( Kiiza) Besigye n'ampa eddagala eryanziza engulu'' Gen. Museveni bwe yagambye.

Yagambye nti kino okubaawo abayekera be aba NRA abaali bakawamba enkambi y'e Kabamba .

Bino yabitegeezezza  mu kiwandiiko kye yafulumizza ekikwata ku kawonvu n'akagga k'olutalo lw'okulwanyisa Obote ne Gen. Tito Okello Lutwa be yawangula mu 1986.

Ekiwandiiko kinnyonnyola amakulu g'okutambuza ebigere (okulamaga) kwaliko ennaku zino n'abaali abalwanyi be abakulembeddwa Haji Ediriisa Sseddunga okuva e Garamba mu Wakiso okutuuka e Birembo mu disitulikiti y'e Kibale. 

 
 
 
 
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...