TOP

Ekivvulu kya Spice Diana kyengedde

Added 6th January 2020

Enteekateeka z'ekivvulu kya 'Spice Diana live in concert' ziri mu ggiya.

 Spice Diana ng'ayogera

Spice Diana ng'ayogera

Enteekateeka z'ekivvulu kya Spice Diana ekitumiddwa ‘Spice Diana live in concert' ziwedde. Atandikira ku Freedom City nga January 17, 2020 oluvannyuma atalaage ebitundu by'eggwanga ebirala.

Ng'ayanjula enteekateeka z'ekivvulu kye mu butongole mu lukung'aana lwa Bannamawulire lwatuzizza ku situdu yo eya 32 records e Makindye olunaku lwa leero,

Spice abadde ayogeza amaanyi ategezezza nga bwasiiba n'okusula ng'awawula ddoboozi atuuke kulunaku lw'ekivvulu  nga teririimu wadde akasaaniiko.

 imon aseruka owa ukedde owokubiri ku ddyo ngasiima pice okukuba emiziki SSimon Maseruka owa Bukedde (ow'okubiri ku ddyo) ng'asiima Spice okukuba emiziki

Ng'ogyeko bannamawulire, olukung'aana luno lw'enjawulo lwetabiddwako abayimbi, bannakatemba, ba DJ, ba MC b'okubivvulu wamu n'abawagizi be era wano Spice wasinzidde okusiima maneja we Roger Lubega na buli muntu alina kyamuyambyeko oba okumugattako mu lugendo lw'okukuba emiziki lwaliko ekimufudde omu ku bayimbi abasinga okukuba emiziki mu ggwanga.

Ye Pulodyusa Bushington eyawereddwa obuvunanyizibwa okukuliramu enteekateeka konsati eno agambye kumpi buli kimu kiwedde era asuubiza abantu okulaba ekivvulu kya Munnayuganda ekitabangawo,

ekitegekeddwa mu mbeera etali ya bulijjo okusinga ne ku bayimbi abamu abava ebweru olw'ebirungo ebikisiddwamu.

 bamu ku bantu ababadde ku situduyo ya pice mu lukungaana lwa annamawulire Abamu ku bantu ababadde ku situduyo ya Spice mu lukung'aana lwa Bannamawulire

"Ekivvulu tukitegese ku mutindo ogwa waggulu era kya kuyimba laayivu. Spice agenda kuyimba ennyimba 15 era agenda okuyimbira essaawa biri awatali kusirisamu ekitegezezza nti abayimbi bonna abagenda okumuwerekerako balina okuyimba nga tezinaba kuweera ssaawa 3:00 ez'ekiro."

Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde era Simon Maseruka kulwa Bukedde agambye nti ng'ogyeko okumanyisa abantu buli kimu ekikwata ku Spice ne kivvulu kye,

Abalaba ba BukeddeTv, abawuuliriza ba Bukedde Fama n'abasomi ba Bukedde Olupapula bagenda kubawa omukisa okuwangula tikiti ezibatwala mu kivvulu kino nga bayita ku mikutu gya Bukedde famire egyenjawulo.

Abagenda okusasula okuyingira ku Freedom City 10,000/- ate VIP 30,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...