TOP

Eyateeze muliraanwa n'amutema bamusse

Added 7th January 2020

OMUSAJJA ateeze muliraanwa n’ejjambiya emisana ttuku okumutta kyokka abatuuze ne bamukwata ne bamutemaatema obulere n’afiirawo. Ggwe yateeze asigaddeko kikuba mukono.

 Abasawo nga bakola ku Sserubowa.

Abasawo nga bakola ku Sserubowa.

Bya PADDY BUKENYA

OMUSAJJA ateeze muliraanwa n'ejjambiya emisana ttuku okumutta kyokka abatuuze ne bamukwata ne bamutemaatema obulere n'afiirawo. Ggwe yateeze asigaddeko kikuba mukono.
Robert Kayonga 38, ow'e Kabuye mu ggombolola y'e Budde mu disitulikiti y'e Butambala ye yateeze muliraanwa we Vincent Sserubowa 58, n'amutemaatema
ng'ayagala okumutta.

Kayonga okutema Sserubowa yasoose kumwekweka mu kasiko okumpi n'ekkubo ly'abadde ayitamu okudda ewuwe ng'ava okugula endagala z'asibamu amayirungi
okugatwala e Kampala olwo n'amuva emabega n'amutema ejjambiya ku mutwe.

 

Bw'atalantuse n'agwa n'amwongera endala ku bulago olwo n'akuba enduulu esombodde abatuuze.

Kayonga abadde agezaako okudduka n'agwa olwo Sserubowa w'amusanze n'amuggyako ejjambiya n'amutemaatema n'amutta.

Abatuuze batemezza ku poliisi y'e Kyabadaaza kyokka egenze okutuuka nga Kayonga mufu kyokka nga ne Sserubowa ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw'okuvaamu
omusaayi omungi ku mutwe n'obulago.

Poliisi y'e Kibibi ng'ekulembeddwaamu akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu Butambala, Zakaliya Mbabazi etuuse mu kifo kino n'etwala Sserubowa mu 
ddwaaliro e Gombe okufuna obujjanjabi.

N'omulambo gwa Kayonga gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Gombe.

Poliisi esanze enjaga mu maka g'omugenzi Kayonga n'ejjambiya eriko omusaayi n'ebitwala ku poliisi bigiyambeko mu kunoonyereza ku bivuddeko ettemu lino.

 


Abatuuze balumirizza omugenzi Kayonga nti abadde mutemu nga yasooka kutta eyali ssentebe w'ekyalo kino, Bosco Male nadduka ku kitundu nga kati abadde yaakakomawo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...