TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alumirizza muwala wa Tamale Mirundi okumubbako bba

Alumirizza muwala wa Tamale Mirundi okumubbako bba

Added 7th January 2020

NNAALONGO Moureen Nanteza yeesowoddeyo n’ajjukiza muwala wa Tamale Mirundi, Teddy Nantongo nti omusajja gwe yafumbiddwa Benard Lutaaya Musoke ye Ssaalongo we gw’alinamu abalongo abaatuula S4.

 Lutaaya ng’aliisa Nantongo ku mbaga yaabwe gye buvuddeko.

Lutaaya ng’aliisa Nantongo ku mbaga yaabwe gye buvuddeko.

Bya VIVIAN NAMAGEMBE

NNAALONGO Moureen Nanteza yeesowoddeyo n'ajjukiza muwala wa Tamale Mirundi, Teddy Nantongo nti omusajja gwe yafumbiddwa Benard Lutaaya Musoke ye Ssaalongo we gw'alinamu abalongo abaatuula S4.

Nnaalongo Nanteza ow'e Bulenga - Gogonya yaddukidde ewa Sarah Kalule ssentebe wa LCI Bulenga B n'amuyitiramu ku nsonga ze nti bba yamwekangidde mu mawulire ng'alaba akyusizza amannya yeetuumye Benard Lutaaya Musoke so ng'abadde naye ebbanga ng'akimanyi nti ye Benard Kajubi.

Ekyamwewuunyisizza kwe kulaba ng'awasa Nantongo so nga ye ebbanga ly'amaze ng'amuzaddemu abaana, yamulekera obuvunaanyizibwa.

 

Omwana omukulu Majorine Naamala yakoma mu S6 mu 2018 n'ateeyongerayo nga Kajubi agambye nti takyalina ssente zimuweerera.

Teyakoma kw'oyo n'abalongo okuli Simon Peter Wasswa ne Spier Kato baatudde S4 omwaka oguwedde kyokka nnyaabwe akyalowooza w'anaggya ssente ezibongerayo tamanyi we zinaava kyokka ne Disan Kajubi 8 owa P3 takakasa oba anaasobola okweyongerayo.

Nanteza yategeezezza BukeddeOnline nti baafumbiriganwa ne Lutaaya mu 1996 kyokka Ssaalongo yatabuka n'abalekawo mu 2011 nga Nnaalongo ali lubuto lwa myezi mukaaga.

Ayagala bba asooke atereeze amaka amakadde, aweerere abaana alyoke yeeyongereyo gy'ayagala okubeera n'omugole.

Nantongo yayanjudde Lutaaya mu maka ga kitaawe Tamale Mirundi e Zzana nga December 18, 2019.

LUTAAYA ANNYONNYODDE

Mmaze ebbanga nga njawukanye n'omukyala oyo olw'ensonga zange kubanga nnalemererwa okubeera n'omuntu nga tan­tegeera era ng'ayagala nnyo okweraguza mu basawo.

Omuwala yafumbirwa, Wasswa akola ate Kato yaakatuula S4.

Abaana nnabaleka wa jjaj­jaabwe e Zzana naye yagenda n'abapakulayo so nga wali baali bafuna buli kimu. Omukyala oyo alina ebigambo bingi nga n'olumu yagamba nti nnabba abaana abalongo ne mbatunda nfunemu ssente.

Nnalina abaana bange abakulu abaamaliriza yunivasite naye omukyala oyo yaboogerera nga bwe batagenda kubeera baana ne ntoba bo ne mbaweerera ne ba­maliriza yunivasite. Naye omuntu ayinza okwebuuza nti ebbanga eryo lyonna lwaki avaayo kati ng'amaze kulaba mukolo?

Nsaba aleke kubalimba nti abaana sibalabirira kubanga buli luwummula babadde babeera wa jjajjaabwe.

Nze nnasembayo okumuwa ssente mu 2016 ng'agamba nti avudde ku mmotoka n'agwa ng'ayagala bujjanjabi kyokka olu­vannyuma ne nkizuula nga yalina akabiina akamubanja ng'ayagala kuzisasula.

Nze ndi musajja Mukatoliki, bye nkola saagala kavuyo, ssente zange nzinoonya, nkolera Mom­basa era abaana ye yabaggya ewa jjajjaabwe gye nnali mbalabiririra n'okubawa obuyambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...