TOP

'Muwe abaamawulire eddembe lyabwe'

Added 7th January 2020

ABAMAWULIRE bangi bazze bafunira obuzibu ku mirimu gyabwe ne bakubwa, okusibwa, okubawambako ebikozesebwa n’okubalemesa okufuna amawulire gebaagala.

Ronistar

Ronistar

Embeera eno abamu bagituusa ku bamawulire mu kumanya oba obutamanya at'abalala ne bakikola nga bagenderedde.

Okunoonyereza okwakoleddwa ekibiina ky'obwannankyewa ekya Twaweza East Africa ne kufulumizibwa November 2019  kuzudde nti mu East Africa abantu babulijjo bawagira nnyo okulaba ng'abamawulire bafuna eddembe lyabwe okusinga bwe kiri eri abo abalina obuyinza.

Novermber 4, 2019 poliisi yakubye ttiyaggaasi n'okukwata abamawulire abaabadde batwala ekiwandiiko nga balaga obutali bumativu ku ngeri poliisi gy'etulugunyamu abamawulire.

OKUNOONYEREZA BYE KUZUDDE:

Mu Kenya okunoonyereza okwakolebwa aba Afrobarometer kulaga nti buli bantu 7 osangako 6 nga bawagira nti abamawulire baweebwe eddembe okuwandiika buli kye baagala nga tewali gavumenti kubakuba ku mukono.

Uganda buli bantu 10 osangako 6 nga bawagira nti abamawulire baweebwe eddembe kuno okunoonyereza kwakolebwa 2014. Ate Tanzania mu 2017 baakola okunoonyereza nga kulaga nti abantu ebitundu 58 ku 100 bawagira nti gavumenti ebeere n'obuyinza okukugira abamawulire okufulumya buli kye basanze.

Mu East Africa buli bantu 10 bebabuuzizza basanze nga 7 bawagira abamawulire okunoonyereza ku baanika ensobi za gavumneti.

Okunoonyereza kuno kwe batuumye Twaweza's Sauti za Wananchi kulaga nti Kenta ne Tanzania eddembe ly'abamawulire balitwala ng'ekkubo okutuuka ku demokulasiya.

Uganda ne Tanzania abantu baagala okubeera nga boogera ku nsobi za gavumenti n'okuginenya ate

Aidan Eyakuze akulira Twaweza bwe yabadde atongoza lipooti yategeezezza nti abamawulire bakola mulimu munene okwanika ebikyamu ng'enguzi n'okuyamba abatali bwogerero okutuusa ebibaluma ku boobuyinza.

Wabula mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo babeera bagguddewo ekkubi eribateeka mu bulabe.

ABAMAWULIRE ABAZZE BAFUNA OBUZIBU:

Newankubadde ng'etteeka lya ‘The access to information act 2005' lirambika engeri omuntu gy'alina okufunamu amawulire ku bitongole bya gavumenti n'awalala, waliwo bangi abakugirwa olumu ne batuusibwako n'obulabe.

 ula ukiibi Sula Mukiibi

 



Abamawulire bangi bazze batusibwako obulabe nga bali ku mirimu gyabwe:

Sula Mukiibi omukozi ku Sauti Radio e Kayunga

Nali nva ku mulimu nga buwungeera ne bampita nga waliwo abalina enkaayana z'ettaka. Abakyala bennatuukirako okubuuza ekibaddewo baatandikakukunkuba.

Nayizibwa bubi engoye ne baziyuza, recorder, camera n'essimu baagyonoona. Ensonga nazitwala ku poliisi ne bansaba 30,000/- okukwata abaali bankubye.

Nabivaako nga sirina sente wabula oluvannyuma lw'emyezi mukaaga nakwatagana n'aba HRNJ ne bakwatako Rose Naluwa ne bamutwala mu kkooti n'emusiba omwaka gumu.

Nalemwa okufuna ensala y'omusango okusobola okugikozesa mpaabe omusango ogw'engassi abaayonoona ebintu byange bandiyirire.

AMON MUKASA:

May 2019, mukama wange yantuma okugenda e Galiraaya - Kayunga nga waliyo abantu bebasendera ebintu byabwe okubagoba ku ttaka.

Nagenda n'abamu ku bantu abaali beemulugunya ne tutuuka ku ttaka ng'ekimotoka kimaze okusenda ekitundu.

Nakwata ebifaanayi olwo abatuuze ne bategeeza nti waliwo omuyindi asenda ettaka okusimbawo ebikajjo. Olw'obusungu baayokya ebimu ku bintu bye baasangawo nze nga nkwata ebifaananyi.

Twali tukyali awo abasajja ne bajjira ki kimotoka loole ne batandika okukuba buli gwe baalabawo.

 mon ukasa Amon Mukasa

Nze bankuba ne nziruka ne neekweka mu kayumba akaali keesudde ekifo wetwali, abasajja bannondoola ne banzigyako ebintu byange okuli kamera n'esimu.

Bankuba ne banyambula engo ne nsigala mu kawale akomunda. Buli lwe nnyumya emboozi eno nfuna ensisi ndaba ng'abasajja abaddamu okunkuba.

Nzijukira omusajja ng'atadde ejjambiya ku bulago bwange ansaleko omutwe munne n'amukwata emikono nga tannaba kutuuka ku mumiro.

Oluvannyuma ennyo abaserikale bannyamba ne banvuga okuntwala ku ddwaliro e Bbaale awo bakama bange bwe baabategeeza webanzigya okunzizaayo e Mukono okufuna obujjanjabi obusungawo.

Abantuba baali bambuuza lwaki nkwata ebifaananyi n'okubuuza wag ye ntwala amawulire. Nabeeyanjulira naye nga tebawuliriza.

Ebintu byange bye baayonoona saafuna kuyamibwa kubizzaawo n'abamu bebaali bakutte baabeeyimirira nga nkyali mu ddwaliro ku kitanda.

UCC ERUNGAMYA NAYE TEREMESA BAMAWULIRE:

Omwogezi wa UCC Ibrahim Bbosa yategeezezza Bukedde nti okunoonyereza okwo kulaga emiwendo nti waliwo abamawulire abakugirwa okwoger abye baagala.

Kyokka omuntu asaana okukimanya nti UCC eriwo kulung'amya ebifulumizibwa ku mpewo pba ebiwandiikibwa abantu baleme kukozesa mikutu egyo kusasaanya bukyayi oba obulimba.

"Omuntu asobola okukozesa emikutu okusasaanya obucaayi, obusosoze mu mawanga, eddiini oba eby'obufuzi singa abeera tewali amulung'amya" Bbosa bwe yannyonnyodde.

UGANDA MEDIA CENTRE ENNYONNYOLA:

Amyuka akulira media Centre Col. Shaban Bantaliza yategeezezza nti kituufu owamawulire alina eddembe okufuna amawulire gaayagala n'agafulumya kyokka alina okukimanya nti ebintu ebitongole bya gavumenti ebimu birina enkizo okugaana okufulumya ebintu ebimu.

Yagambye nti ebintu ebimu birina okutunuulirwa mu ngeri ey'enjawulo ng'omuntu tonkulembeza mawulire, gavumenti oba omuntu akugaanye okubifulumya naye wa wekiteeka Uganda.

Annyonnyola nti abakola okunoonyereza basaana okugenda mu buli kanyomero okuzuula ekituufu kiki ekiriwo baleme kwoger aku ddembe lyokka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono