
Minisita Muyingo nga yeekenneenya engatto abavubuka ba Zam Zam Shoe Makers ze baamutonedde nga bamusiima okubaddiza
Bya Madinah Sebyala
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza ebya waggulu, Dr. John Chrisestom Muyingo atongozza enkola empya eneegobererwa okutumbula ebyenjigiriza n'okulwanyisa obwavu mu Ssaza ly'e Bamunanika.
Muyingo nga ye mubaka wa Paalamenti ow'essaza ly'e Bamunanika yagambye nti, alina bbasale ezisoba mu 500 okuva ku pulayimale, siniya n'amatendekero aga waggulu kyokka enkola ebaddewo ey'okugabira abayizi abayitidde mu ddaala erisooka bbasale eggyiddwaawo n'esikizibwa abaana abalina empisa era nga balina n'obukakafu nti, bazadde baabwe b'e Bamunanika be bokka abagenda okusoosowazibwa.

Omulimu gwonna gugenda kukolebwa ba kakiiko ka LC1 ku buli kyalo nga bayambibwako abatuuze kubanga yakizudde nti, enkola ebaddewo tebadde nambulukufu nga batuuka n'okuwa abagwiira bbasale nga bwe bamala okusoma baddukabuddusi kye yagambye nti, byonna bikomye mwaka guwedde.
"Nneewunya bwe nagenda ku ssomero erimu okulambula ku baana be twawa bbasale okulondoola ku nsoma yaabwe ng'abamu Basudani ne ndowooza ebintu bingi era leero kye nvudde nkyusaamu mu nkola eno nga kati obuyinza mbukwasizza abakakiiko ka LC1 n'abatuuze balonde abaana abalina empisa era be bakakasa nti, bwe banaamala okusoma bajja kudda babeeko kye bakyuusa mu kitundu kyabwe," minisita bwe yakalaatidde.

Yabadde ku ssomero lya Kakoola High School mu Ggombolola y'e Bamunanika mu disitulikiti y'e Luweero bwe yabadde asisinkanye ab'e Bamunanika okumalako omwaka ku mukolo ogwabadde ogwa kabbokamuwala minisita mwe yaweeredde obuyambi obw'enjawulo olwo naye ne bamwebaza bwe baamutonedde ebirabo omwabadde enkoko, ebibala, amatooke, engatto n'ebirala bingi nga bamusiima omutima omugabi gw'alina.
Minisita era yabawadde n'amasannyalaze n'abasaba obutagakozesa kunywa bbiya annyogoga wabula bageeyambise okugoba obwavu naddala abavubuka okwokya ebyuma.