TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dayirekita ali ku gw'okusobya ku bayizi akoze katemba mu kkooti

Dayirekita ali ku gw'okusobya ku bayizi akoze katemba mu kkooti

Added 8th January 2020

DAYIREKITA w’essomero agambibwa okusobya ku bayizi be akoze katemba mu kkooti n’abenganda ze nga beekalakaasa nti ensonga ezimusibya za byabufuzi ne bizinensi y’essomero.

 Wamala gwe balumiriza okusobya ku bayizi nga akola olutalo ku kkooti.

Wamala gwe balumiriza okusobya ku bayizi nga akola olutalo ku kkooti.

Bya PADDY BUKENYA
 
DAYIREKITA w'essomero agambibwa okusobya ku bayizi be akoze katemba mu kkooti n'abenganda ze nga beekalakaasa nti ensonga ezimusibya za byabufuzi ne bizinensi y'essomero.
 
Asadu Wamala dayirekita w'essomero lya Wamala Mixed Secondary School e Mpambire agambibwa okusobya ku bayizi b'essomero lye ebatanneetuuka 
ne mmeetulooni we Harimah Nansubuga olutusiddwa ku kooti eMpigi embeera nekyankalana nga Wamala alumiriza abantu bavuganya nabo mu bizinensi yamasomero okubeera mu kobaane lyokumusibisa.
 
Wamala abadde asibiddwa empingu ku mikono n'enjegere ku Magulu bakira aleekaanira waggulu nti emisango egimuvunaanibwa girimu ebyobufuzi n'ebyemirimu mu bizinensi z'amasomero agamuvuganya.
 
Kino kisaanudde abooluganda lwe n'abakozi be ababadde ku kkooti ne batandika okuleekaanira waggulu nga bakolimira abantu abavunaana omuntu waabwe n'okutiisatiisa abaamawulire be bagamba nti balemedde ku muntu waabwe nga basasulwa oludda oluvunaana Wamala n'ekigendererwa ky'okumutunza ebyobugagga bye.
 
Abaserikale ba kkooti beagezezzaako okukkakkanya abantu ba Wamala ne bagaana nga baleekaanira waggulu ekyabawalirizza okubagoba ne babafulumya kkooti okuzza embeera mu nteeko.
 
Wamala ne mmeetulooni we, Nansubuga baasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ento Maurine Mukoye n'abasomera emisango oluvannyuma n'abasindika ku alimanda e Kigo okutuusa nga January 21, 2020.
 
Wamala avunaanibwa emisango gy'okusobya ku bayizi n'okubatigaatiga gy'agambibwa okuzza mu mwezi gwa October ne November omwaka oguwedde gattako mmeetulooni w'essomero ly'e Harimah Nansubuga avunaanibwa ogw'okuyambako Wamala okusobya ku bayizi be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...