TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi yenyodde n'abasuubuzi abakedde okwekalakaasa olwa Gavumenti okuggala kampuni eyali egambibibwa okuzaaza ssente

Poliisi yenyodde n'abasuubuzi abakedde okwekalakaasa olwa Gavumenti okuggala kampuni eyali egambibibwa okuzaaza ssente

Added 8th January 2020

Poliisi yenyodde n'abasuubuzi abakedde okwekalakaasa olwa Gavumenti okuggala kampuni eyali egambibibwa okuzaaza ssente(Dunamiscoin)

TITAGAASI n'amasasi binyoose mu kibuga wakati nga poliisi erwanagana n'abasuubuzi abakolera mu akeedi ez'enjawulo wamu ne paaka empya n'enkadde abakedde okwekalakaasa olwa kye bayise gavmenti okuteeka envumbo ku ssente zaabwe ze batereka mu kampuni ezizaaza ssente...

Gavumenti ng'eyita mu kitongole ekirondoola ssente n'enkozesa yaazo okuva mu banka ya Uganda enkulu yatadde envumbo ku ssente z'abasuubuzi (ze babadde batereka mu kibiina kya Dunamiscoin) olwa kye yayise okwekengera  ebigendererwa kya kampuni eno okusinziira ku Godfrey Katongole akulira ekibiina kya KATA (ekigatta abasuubuzi b'akeedi ez'enjawulo mu Kampala).

Ssente zino okusinziira ku Katongole zibadde ziyamba abasuubuzi okufunamu amagoba buli ku nkomerero y'omwezi kyokka gye buvuddeko (ku ntandikwa ya December) abakungu ba banka enkulu batadde envumbo ku akawunti ya Dunamiscoin wamu n'okuggalira abakungu bayo mu buddukulu bwa poliisi olwa kye baayise okuva ku mulamwa gw'okuwola n'okuterekera abasubuzi ssente zabwe(ogwabaweesa layisinsi) ne badda mu kwaagala okuzizasaamu amagoba mungeri etategerekeka.

Era embeera eno yetabudde abasuubuzi ne bekalakaasa ekireeseewo akajagalalo mu kibuga wakati wamu n'okusanyalala kw'emirimu ekiwaliriza poliisi okubakubamu tiyagaasi n'amasasi okusobola okubaggumbulula.

Gye bigweredde nga n'abamu ku bakulembeze babwe okuli Katongole (abadde abakulembedemu akwaatiddwa naggalirwa ku poliisi ya paaka empya.

  

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...