TOP
  • Home
  • Amawulire
  • yiga okukola ennyama ya ffene ogobe obwavu mu 2020

yiga okukola ennyama ya ffene ogobe obwavu mu 2020

Added 8th January 2020

yiga okukola ennyama ya ffene ogobe obwavu mu 2020

 Omukenkufu Nyanzi ng’alya ennyama gy’akola mu ffene.

Omukenkufu Nyanzi ng’alya ennyama gy’akola mu ffene.

FFENE kibala ekimanyiddwa okuliibwa ng'amulya asokoola miwuula oba okusanga omusokoole n'alya naddala ennaku zino gwe bateeka mu bukonteyina ne batambuza mu ofiisi ne akeedi mu bibuga. Naye obadde okimanyi nti, ffene oyo akuwoomera ate osobola okumugattako omutindo n'omukolamu ennyama eriibwa buli omu ne gwe baalagira okugivaako.

Nkulaba otandise okwefumiitiriza ennyama ya ffene bw'eyinza okufaanana oba okuwooma. Abamu balowooza tekisoboka, era ffene ng'avaamu atya ennyama? Naye beerabira ekintu kimu nti, ky'otosobola kukola tolowooza nti tekisoboka? Ky'ekiseera abantu okuzibuka amaaso.

Ffene alina ebiwuziwuzi ebiringa ebiri mu nnyama y'ente ebya ‘connective tissue' ekitegeeza nti, musobola okuvaamu ennyama ate eriibwa buli muntu, n'abo abalina alaje ku nnyama bagirya kubanga tebaleetera birogologo.

Ssinga ogatta ebiwuziwuzi bino mu butto w'entungo n'ekinzaali n'emitendera emirala nga bwe tunaagimalayo okolamu ennyama. Ate ekirala tebaamu masavu nga gano agali mu nnyama eyaabulijjo noolwekyo eya ffene takuleetera mugejjo ate nga tesobola kukulwaza kalusu oba bulusera ebitera okuva ku nnyama. Tesiba byendanga bwe guli ku nnyama endala olumu ekivaako abamu okulwala alusa ate tekola butwa mu mubiring'ogiridde.

Kino kitegeeza nti, omuntu abadde akola sumbuusa ogendakukola sumbuusa ezirimu ennyama ya ffene, kino kigenda kubeera kipya n'abalala abakola ebintu ebigendamu ennyama mufunye ennyama empya. Wabula n'abantu abamulima ky'ekiseera okumugattako omutindo. Akatale weekali wano mu Uganda n'ebweru kuba Abayindi tebalya nnyama ya nte.

 nnyama ekoleddwa mu ffene nga bamaze okumupakira Ennyama ekoleddwa mu ffene nga bamaze okumupakira.

 EMIGASO GY'ENNYAMA YA FFENE

1 Eyamba ku balwadde b'amagulu nga baabagoba ku nnyama kubanga eno teriimu asidi ayinza kubakosa.

2 Ssinga omuntu agirya teyeesiba mu lubuto, waliwo abantu abalya ennyama n'ebasiba mu lubuto, wabula bino ebiwuziwuzi tebibasiba.

3 Teriimu masavu nga bw'olaba ku nnyama kubanga omuntu bw'alya ennyama emuleetera ama-savu olumu agaleeta obulwadde bw'entunnunsi ekivaako omutima okwesiba.

4 Erimu vitamiini B6 ayamba obwongo, emisuwa n'obusimu.

Ate omubiri gugikuba mangu n'eterwa mu kyenda.

5 Abatunda ennyama abamu bamanyi okukozesa eddagala okugoba ensowera ekivaako okuleeta kookolo ate ekitali ku nnyama ya ffene. Jjukira nti, tukuyigiriza n'okugikola buli Lwakubiri.

6 Ffene avaamu ebintu ebirala, kuba ensigo bw'ozisiika osobola okuzirya ng'enva, avaamu ayisi kuliimu, avaamu omubisi, avaamu siyaagi gwe bateeka ku migaati, avaamu obuwunga oba ehhaano gye bakolamu emigaati.

Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...