TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagala okuvuganya ku ntebe y'ekibiina kya JEEMA beeswanta

Abaagala okuvuganya ku ntebe y'ekibiina kya JEEMA beeswanta

Added 8th January 2020

Abaagala okuvugnya entebe y'ekibiina kya JEEMA beswanta

Ng'okulonda kw'abakulembeze mu kibiina kya Justice Forum (JEEMA) kubindabinda. Abantu abaagala okuvuganya Omubaka wa Munisipaali y'e Bugiri era pulezidenti w'ekibiina kino, Asuman Basalirwa beeswanta.

Eggulo omuvubuka Gamba Bukhali yavuddeyo n'ategeeza nga bw'agenda okumuvuganya afuuke omukulembeze w'ekibiina kino kubanga ekisanja kya Basalirwa Kiggwaako mu March era tamusuubira kuddamu kuvuganya.

Okusinziira ku ssemateeka wa JEEMA omukulembeze talina kusukka bisanja bibiri gye myaka kkumi nga eKya Basalirwa gikwago mu mwezi era Gamba agamba nti mwetegefu okukwata enkasi y'ekibiina okukitwala mu maaso .

Ono y'akulira abavubuka bonna mu kibiina kino era ye mukwanaganya w'abantu bonna abaagala okuvuganyiza ku kaadi ya JEEMA era agamba nti ebisanyizo byonna ebimufuula omukulembeze abirina .

Bweyabadde mu lukiiko lwa Bannamawulire lwe yakubye mu ku kitebe ky'ekibiina e Mengo yalumirizza Basalirwa okuwubisa Bannakibiina ng'ayita mu mwogezi w'ekibiina kino Abdunull Kyamundu  ng'abagamba ng'esaawa y'okulonda bwekutagenda kubaawo kyokka nga ssemateeka w'ekibiina amumanyi buluungi .  

Gamba Mutabani wa Muhamod Bukhali omu ku batandikawo ekibiina kya JEEMA era agamba nti ekibiina kino mwakulidde okutuusa lweyesowoddeyo okuvuganya ku bukulembeze bw'ekibiina era kimuli mu musaayi .

Okukyusa obukulembeze mu kibiina kya JEEMA kusuubirwa okubaawo mu mwezi gw'okusatu omwaka guno era abakulembeze ku mitendera gyonna okuviira ddala ku pulesidenti okutuuka ku byalo batandise dda okwesowolayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...