
Ekizimbe ekigudde ne kibuutikira abantu mukaaga ne bafiirawo
EKIZIMBE ekibadde kizimbibwa e Kansanga kibuutikidde abantu mukaaga ne bafiirawo ate abalala basatu ne batwalibwa mu malwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Ekizimbe kino, ekibadde kigenda okubeera eky'eby'obuusubuzi, kyabadde kikyali mu musingi era ettaka eryabumbulukuse, lyabadde lyasigala bbali nga lye likola ekisenge kwe babadde basitulira omusingi.

Ronald Okoth omu ku bakawonawo agambye nti, omu ku bayinginiya w'ekizimbe kino yalabye ettaka nga liragaya eggulo limu n'abagamba nti ye omulimu yabadde tajja kugusobola era n'akwatamu ebibye n'avaawo.
Ayongeddeko nti, leero bakedde kukola wabula babadde bakakkirira wansi ettaka ne litandika okubumbulukuka ne libagwiira. Agamba nti wansi baabaddeyo nga 30 wabula abasing baasobodde okweyambayamba ne bavaayo ate abalala poliisi ye yabaggyeeyo nga bakyali balamu ne batwalibwa mu ddwaliro.

Agaseeko nti, bannabwe mukaaga abaabadde ku kisenge ddala, bbo tebaasobodde kutaasibwa nga balamu era poliisi yaggyeeyo mirambo ne gitwalibwa mu ddwaliro e Mulago.
Ekizimbe kino, kigambibwa nti, nannyini kyo ye Umar Katongole era ekipande ekiraga ekizimbe nga bwe kigenda okufaanana kyawandiikibwako nti kibadde kigenda kuyitibwa UK Mall, pulaani yakyo, yakubibwa aba Archstone Consult Limited ate ba yinginiya baakyo ba kkampuni ya SMK House Ltd ng'akulira ababadde bakizimba erinnya kuliko limu lya Mubiru.

Francis Sseguya ssentebe w'omuluka gw'e Kansanga abaddewo nga poliisi eziikula emirambo agambye nti, baggyeeyo emirambo mukaaga wabula bonna tekwabadde mwana wa ku kitundu.