
Beti Kamya ng’akwasa Amongi ofiisi. Mu katono ye Lukwago.
Bya JALIAT NAMUWAYA
ABADDE minisita wa Kampala, Beti Kamya alabudde Loodi Mmeeya Erias Lukwago okukomya okuzannya ebyobufuzi ebitazimba n'amujjukiza nti Bannakampala baagala nkulaakulana.
Kamya okwogera bino yabadde akwasa minisita Betty Amongi eyamuddiridde mu bigere ofiisi n'asaba Lukwago okukolagana naye mu kukulaakulanya Kampala.
Kamya yeebazizza Bannakampala olw'obuwagizi bwe bamuwadde ekiseera ky'amaze nga minisita wa Kampala.
Yayanjulidde minisita Amongi enteekateeka eziwerako ze bamaze okubagako ne ssente ze bamaze okufuna okuva mu World Bank ne African Development Bank ez'okwongera okukulaakulanya Kampala mu myaka ebiri egijja.
Mu byo mulimu okuleeta bbaasi 980, okwongera okukola enguudo, okuzimba emyala wamu n'okussa amataala ku nguudo. Minisita Amongi yeeyamye okukolaganira awamu n'abakulembeze abalonde mu KCCA n'okusookanga okwebuuza ku Bannakampala.
Minista Beti Kamya yatwaliddwa mu ministule y'ebyettaka nga kati ye minisita w'ebyettaka.