TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka akwasizza abazannyi ba Bulemeezi amayinja ag'omuwendo ng'abayozaayoza okuwangula amasaza

Kabaka akwasizza abazannyi ba Bulemeezi amayinja ag'omuwendo ng'abayozaayoza okuwangula amasaza

Added 10th January 2020

Kabaka akwasizza abazannyi ba Bulemeezi amayinja ag'omuwendo ng'abayozaayoza okuwangula amasaza

 Kabaka ng'akwasa omukungu ejjinja ery'omuwendo

Kabaka ng'akwasa omukungu ejjinja ery'omuwendo

SSAABASAJJA KABAKA alagidde abazannyi mu mpaka z'amasaza ga Buganda bakozese ettutumu lye bafunye mu mpaka zino okutuusa obubaka ku nsonga enkulu ezigasiza awamu abantu naddala eby'obulamu omuli n'okulwayisa obulwadde bwa siriimu.

 

Bino abyogeredde ku kisaawe ky'e Bamunanika mu disitulikiti y'e Luweero mu ssaza ly'e Bulemeezi ku mukolo kwagabulidde Bannabulemeezi n'okubakulisa okuwangula ekikopo ky'amasaza ga Buganda 2019 bwe baakuba Busiro ggoolo 1-0.

 

OBUBAKA BWA KABAKA MU BUJJUVU:

Tukung'aanye wano olwa leero okuyozayoza n'okusanyukirako Bannabulemeezi olw'okuwaangula empaka z'omupiira ogw'amasaza ga Buganda ez'omwaka oguwedde

Tubeebaza olw'okubeera abawanguzi mu mupiira ogwali ogw'okuvuganya okw'amaanyi ennyo. Mu ngeri y'emu twebaza ekitongole ky'e Mmengo ekivunanyizibwa ku mizannyo olw'entegeka y'emipiira ennungi.

 

Twebaza abazanyi,abakulembeze ba ttiimu,abakulembeze b'essaza, Bannabyabufuzi nabo bonna abakwatira ku ttiimu y'essaza.

Obuwanguzi bwe mwatuukako ffenna tubwenyumirizaamu era tusanyuka nnyo okulaba nga buli mwaka, omutindo gw'empaka zino gwe yongera bweyongezi.

 

Empaka zino tuzitunulira ng'erimu ku makubo ag'okwegatta okw'abantu baffe era ettutumu abazanyi lye bafuna tubasaba nti balikozese okutuusa obubaka ku nsonga enkulu ez'obulamu bwaffe omuli n'okulwanyisa obulwadde bwa siriimu mu bavubuka

Tuyozaayoza era amasaza gonna agabadde mu kuvuganya okw'empaka eza 2019.

Njagala okwebaza bonna abatuletedde amakulu n'abo abatusanyusiza era tubagaaliza okujaguza okw'emirembe. Mwebale nnyo mwebalire ddala.

 KATIKKIRO MAYIGA ASABYE BANNABULEMEEZI:

Mu kwogera kwe, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu b'ekitundu kino okukuuma ettaka ly'Obwakabaka n'erya Kabaka erisangibwa mu kitundu kino kubanga balina omukisa nti Kabaka alina Olubiri mu kitundu kino n'olwekyo nga kibakakatako okukuuma Nnamunswa waabwe.

"Omukolo guno gwakubeera n'amakulu nga ttimu esigadde n'amaanyi ne musobola okuddamu okuwangula ekikopo kino mpozzi nga mwagala Buddu ekibatwaleko," Mayiga bwatyo bweyasomooza Bannabulemeezi okuddamu okuwangula ekikopo ky'amasaza omwaka guno.

Ku mukolo guno Kabaka akwasizza ab'e Bulemeezi, ekikopo ekiwunde obulungi ng'ekirabo ky'ekijjukizo olw'obuwanguzi buno, n'akwasa buli muzanyi n'abakungu ba ttiimu y'e Bulemeezi ejjinja ery'omuwendo okuli obubaka obumuyozayoza olw'obuwanguzi bwe baatusa ku ssaza ly'e Bulemeezi.

Ye Minisita w'emizannyo mu Buganda, Henry Ssekabembe Kiberu ategezezza ng'omukolo guno bwegwongedde amaanyi mu mpaka z'amasaza ng'era bakwongera okulaba nga zidda ku ddaala eddala.

Kkangaawo Ronald Mulondo nga yatwala essaza ly'e Bulemeezi yebazizza Kabaka Mutebi II olw'okutumbula eby'emizannyo mu Buganda ng'atambulira mu buufu bwa bakadde be nga kitaawe Ssekabaka Muteesa II ku kisaawe ky'e Bamunanika weyasambiranga omupiira era n'awera okukulemberamu essaza lino okweddiza ekikopo kino.

Ssentebe wa disitulikiti y'e Luweero Ronald Ndawula yeyabadde Ssentebe w'omukolo guno era yebazizza bonna mu kitundu kino nga bakulemberwamu Minisita w'ebyenjigiriza ebyawaggulu Dr. JC Muyingo era nga ye mubaka wa Bamunanika mu Palamenti, eyawaayo ensimbi ezisukka obukadde butaano olw'okubakwatirako omukolo guno.

Ku mulundi guno n'abavujjirizi ba ttiimu y'e Bulemeezi nga bakulembeddwamu Gen. Salim Saleh, Charles Nsereko ne mukyala we Rose Namayanja Nsereko n'abalala, Kabaka abakwasizza amayinja agabeebaza olw'obuwagizi era Nsereko ne yeyama okwongera okuwagira ttiimu.

Omukolo gwetabiddwako Bannaddiini okuli Omusumba w'e Kasana- Luweero Paul Ssemwogerere,Omulabirizi w'e Luweero, Eridadi Nsubuga,Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu ebikola Bulemeezi okuli Lilian Nakate,Abraham Byandala, Sarah Najjuma ne Edward Ssembatya owa Katikamu South n'abaami ba Kabaka ku mitendera emirala gyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...