TOP

Trump asazeewo bateese ne Iran

Added 10th January 2020

Mu ngeri eyewuunyisa, Iran egonzezza Amerika, Trump n’awandiikira ekibiina ky’amawanga amagatte kibatuuze ku mmeeza bateese awatali kakwakkulizo konna.

 Trump ng’ayogera eri egganga ku ky’azzaako oluvannyuma lwa Iran okukuba mizayiro 22 ku nfo za America mu Iraq.

Trump ng’ayogera eri egganga ku ky’azzaako oluvannyuma lwa Iran okukuba mizayiro 22 ku nfo za America mu Iraq.

Mu ngeri eyewuunyisa, Iran egonzezza Amerika, Trump n'awandiikira ekibiina ky'amawanga amagatte kibatuuze ku mmeeza bateese awatali kakwakkulizo konna.

‘Tuli beetegefu okuteesa ne Iran ku mbeera eriwo awatali kakwakkulizo konna', Trump bweyategeeezezza mu bbaluwa gyeyatisse omubaka waayo Kelly Craft.

Omubaka Kelly yagambye nti okusaba okuteesa ne Iran bakikoze kwewala kutabangula mirembe mu nsi singa amawanga gombi galwana.

Wabula Amerika yakiremeddeko nti okutta Gen Soleimani yakikoze kwetaasa ng'esinziira mu kawaayi nnamba 51 ak'etteeka lya UN erikkiriza eggwanga okwerwanako nga lilumbiddwa.

 mugenzi en oleimani ku kkono lwe yali mu kafubo ne yatollah mu 2019 Omugenzi Gen. Soleimani (ku kkono) lwe yali mu kafubo ne Ayatollah mu 2019.

 Wabula omubaka wa Iran mu kibiinaaa kyyya mawanga magatte, Majid Takht Ravanchi yagambye nti okusaba kwa Amerika bateese kwabwewussa kubanha tebayiza Kuteesa ng'eno bwebassaako natti enkakali ezinyiga abantu baabwe aba bulijjo.

Omukulembeze wa Iran ow'okuntikko Ayatollah Ali Khamenei atuuzizza bagenero ab'okuntikko ne bamulaga enfo endala Amerika z'erina mu Iraq.

Bamugumizza nti zino bwe banaazikuba, Amerika ejja kusannyalala kubanga bakakasa nti newankubadde Trump yeegumya nti mizayiro 22 zebaakubye ku Lwokusatu tezaakosezza Bamerika, bo bakimanyi nti abaasimattuse okufa ebisago byebaafunye bijja kubaleka nga balema abatakyalina kyebasobola kukola obulamu bwabwe bwonna.

 mugenzi en oleimani ku kkono lwe yali mu kafubo ne yatollah mu 2019 Omugenzi Gen. Soleimani (ku kkono) lwe yali mu kafubo ne Ayatollah mu 2019.

 Bagenero baamatizza mukama waabwe nti Iran okubeera nemirembe bateekeddwa okwongera okukuba enfo Amerika zonna kigiwalirize okuggya amagye gaayo mu Iraq geekozesa okutulugunya amawanga getakkiriziganya nago mu kyondo kya Buwalamu.

Ayatollah naye yeeyongedde okuwaga nti ekyo kye baakoze Amerika kiringa bw'okuba omuntu oluyi mu maaso n'awunga n'asigala ngatagala kyokka nga teyeekakasa watuufu gy'alaga.

Yayongeddeko nti Iran erina abaserikale bali mu bukadde nga bonna bali bulindaala.

Erina ebyuma ebisobola okukuba ekifo kyonna kye babeera baagadde okwang'anga mu Kyondo kya Buwarabu n'eggye ery'okumazzi erisobola okukolera awamu n'ebitongole ebirala byonna okuwoolera eggwanga ku Amerika eyabattidde Gen. Qassem Soleimani wiiki ewedde.

 bamerika nga beekalakaasa okulaga obutali bumativu olwa rump okulumba ran Abamerika nga beekalakaasa okulaga obutali bumativu olwa Trump okulumba Iran.

 Iran ekozesa tekinologiya wa Russia abalibwa okubeera omu ku tekinologiya asingirayo ddala okubeera ow'omulembe mu nsi yonna.

Russia mulabe wa Amerika, azze yeekolera sente mu kuguza amawanga agamu mu kyondo kya Buwarabu eby'okulwanyisa ng'e Syria ne Lebanon.

Yabamenyedde akawonvu n'akagga ku ngeri gye beetegeseemu nti balina abajaasi 150,000 abakugu ennyo mu nkola ez'enjawulo nga kye basinga okumanya kwe kutta omulabe wa Iran, abajaasi ababulijjo abali mu ggye lya Islamic Revolutionary Guard balina 350,000 n'abalala abakunukiriza mu kakadde bali mu ggya ezzibizi.

Pulezidenti wa Iran Hassan Rouhani yawaze nti tewali kuteesa ne Amerika ku mbeera yonna eriwo ne bwe kibeera kiki.

"Amerika bw'ebeera etukozeeko ekikolobero erina okumanya nti naffe tuteekwa okugiddiza omuluira, bwe babeera bagezi balina okwewala okuddamu okutusomooza" bwe yalabudde.

 izayiro ateh110 ngesituka okukuba omulabe Mizayiro Fateh-110 ng'esituka okukuba omulabe.

 IRAN EYANUKUDDE NTI NATTI TEZIGIYIGULA TTAMA

Omubaka wa Iran mu kibiina ky'amawanga amagatte Majid Takht Ravanchi, yayanukuliddewo nti luno Amerika yeeyalutakudde era lwakugyokya engalo nga beesasuza okubeera nti yasse Soleimani.

Okutuuka okufulumya bino yabadde ayanukula ku bbaluwa Amerika gye yawandiikidde ekibiina ky'amawanga amagatte ng'etegeeza nti okumutta kwabadde kwerwanako kubanga omusajja abadde mutujju nga bamulondodde okumala ebbanga ddene ng'abattira abantu.

 akomando ba ran mu kutendekebwa nga beetegekera olutalo Bakomando ba Iran mu kutendekebwa nga beetegekera olutalo.

 ENGERI MIZAYIRO ZA IRAN GYE ZAALUMIZZA AMERIKA

Ebipya ku mizayiro 22 Iran ze yakubye ku al-Asad air base awali amagye ga Amerika ag'omubbanga biraga nti enkambi eno yakoseddwa nnyo.

Enkambi eno esangibwa mu ssaza ly'e Anbar era pulezidenti Trump yagikyalirako n'omumyukawe Mike Pence.

Ebifaananyi ebyakubiddwa kkamera za satellite biraga nti ebintu bingi yayonooneddwa okuli ebizimbe n'ebyokulwanyisa ebiwerako.

Ebizimbe ebiri ku kisaawe ky'ennyonyi byazzeemu enjatika ezamaanyi.

Zaakubye ebizibe bisatu (3) wabula tekyakakasiddwa biki ebibadde bikolerwa mu bizimbe bino na kiki ekyabadde munda ekyayonoonese.

 mu ku mizayiro za ran ezomutawaana nga bagisembeza ku nsalo Emu ku mizayiro za Iran ez'omutawaana nga bagisembeza ku nsalo.

 Trump ayongedde

Okuboggola Ayatollah yabadde atuuza Bagenero, Trump ng'ali eri awaga anti tagenda kukoma ku kyakukuba Iran kyokka agenda kugyongerako natti abanafuye ne mu byenfuna atuuke okubakuba ng'amenya mu jjenje kkalu.

Minisita wa Amerika ow'ebyokwerinda, Mark Esper  okukuba mizayiro ezasse
Gen. wa Iran kyayambyeko nnyo okugigolola ettumba era akakasa nti Iran ejja kulwawo okuddamu okwewaga okukola obulumbaganyi bwonna ku Amerika obutereevu.

Yagambye nti bumizayiro Iran bwe yakubye abutwala nga bw'olaba omwana abadde akaabira eky'okulya naye bw'omuteekerawo ettama n'akukubamu obuyi ne bwe bubeera tebukulumye ye asigala mumativu nti akukubye.

Trump yasoose kwewaana nti Amerika erina eggye erisinga okubeera n'ebyokulwanyisa era erisinga okubeera eryamaanyi mu nsi yonna.

Trump era yagambye nti nga bwe yakutte Iran mu liiso ku ky'okutta genero waayo, kati asobola okuddirizaamu ku bunkenke obubaddewo n'alagira amagye gabeere bulindaala kyokka n'agamba nti kabamale okwongera okukaliga natti z'ebyobusuubuzi
ku Iran balabe oba kyongera okugikkakkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwala atanneetuuka gwe baafunyisizza olubuto.

Abapoliisi basattira ku by'...

ABASERIKALE ba poliisi mu disitulikiti y’e Hoima babiri basattira olw’okuyimbula omusajja eyafunyisa omwana atanneetuuka...

Pallaso ku poliisi. Pallaso ng’alaga empingu gye yadduse nayo

Pallaso yeetutte ku poliisi...

MZEE Gerald Mayanja, kitaawe w’omuyimbi Pallaso asiitaanidde ku poliisi e Katwe okugikkirizisa okuyimbula mutabaniwe...

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...