TOP

Museveni amalirizza olw'e Birembo

Added 10th January 2020

PULEZIDENTI Museveni amazeeko kkiromita 195 mu kutambula kw’amazeeko ennaku mukaaga. Okutambula kuno okwatandika ku Lwomukaaga okuva e Galamba mu disitulikiti y’e Wakiso kwetabyemu abantu bangi abaatambudde okumala ennaku omukaaga okutuuka e Birembo mu disitulikiti ye Kakumiro eggulo ku Lwokuna.

 Museveni n’abamu ku be yatambudde nabo kkiromita 195 mu lugendo lw’e Birembo.

Museveni n’abamu ku be yatambudde nabo kkiromita 195 mu lugendo lw’e Birembo.

Bya KIZITO MUSOKE

PULEZIDENTI Museveni amazeeko kkiromita 195 mu kutambula kw'amazeeko ennaku mukaaga. Okutambula kuno okwatandika ku Lwomukaaga okuva e Galamba mu disitulikiti y'e Wakiso kwetabyemu abantu bangi abaatambudde okumala ennaku omukaaga okutuuka e Birembo mu disitulikiti ye Kakumiro eggulo ku Lwokuna.

Lyabadde ssanyu jjereere mu batuuze be Kakumiro abaakungaanye ku makubo nga beesibye
essanja ku mitwe n'abalala nga bakutte ebipande bya Museveni mu ngeri y'okumulaga obuwagizi.
Okutambula kuno kwabaddemu okuwalampa ensozi n'okubuuka emigga n'obuwonvu, 
era abamu obwedda balabika  nga bakooye, ate abalala nga bafuna entambula ennyangu
n'ebasomosa okubatuusa mu kifo ekiba kiddako Pulezidenti w'aba agenda okwogererako eri abantu.


Ebimu ku bitundu bye bayiseemu okuva e Wakiso mulimu; Nakaseke, Mubende, Kiboga, Mityana, Kassanda okutuuka e Birembo - Kakumiro mu Bunyoro.

Yonna Pulezidenti gy'ayise abantu babadde bamwaniriza mu bungi nga bwe bamunnyonnyola
ebizibu ebibanyiga omuli,amasomero amabi, enguudo ezirimu ebinnya, ssente z'akasiimo
n'ebizibu ebirala.

 bamu ku baana babaazirwanako nga bali ne ulezidenti useveni e utorogo mu disitulikiti ye ubende Abamu ku baana b'abaazirwanako nga bali ne Pulezidenti Museveni e Butorogo mu disitulikiti y'e Mubende.

 



Eky'okusisinkana abaazirwanako kyasanyusizza Museveni n'ategeeza nti kimuyambye okulaba abantu b'aludde okusisinkana n'okwongera okumanya embeera gye balimu.

"Bye mumbuulidde bigenda kunnyamba okutereeza ebibadde bitambula bulungi kuba nsisinkanye abantu abeetaba mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza," bwe yayogedde ng'ali e Nakaseke.

Mu kulwana baakozesa nnyo akakodyo k'okuwamba ebyokulwanyisa okuva ku baserikale ba Gavumenti era nga we baatuukira olwa Januray 9, 1985 baali bawezezza ebyokulwanyisa 650 omwali emmundu n'ebyokulwanyisa ebirala.

Abasinga abaatambudde baabadde bavubuka obwedda pulezidenti b'ayita ‘abazzukulu' nga baafunye omukisa okusomesebwa okuva mu balwanyi abenjawulo engeri olutalo gye lwatambulamu.


Lydia Kalemeera, akulira abavubuka ba NRM e Mityana yatender ezza abaazirwanako n'agamba nti obukoowu bw'awulira akakasizza nti ddala beewaayo okununula eggwanga.

Malik Kiberu eyavudde e Mukono yagambye nti ng'abavubuka baafunye omukisa okulambula n'okumanya ebintu bye babadde tebamanyi ku lutalo olwaleeta NRM mu buyinza.


Abaatambudde baasooka kukuhhaanira ku kisaawe ky'eggwanga e Kololo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ne baluhhamizibwa ku bintu bye baalina okugoberera nga batambula. Abantu ab'ebiti eby'enjawulo okuli bannabyabufuzi ku mitendera egy'enjawulo, abayimbi okuli; Daniel Kazibwe (Ragga Dee), Hassan Ndugga, Michael Mugwanya (DJ Michael), Catherine Kusasira, Full Figure n'abalala bangi.

Ebyokwerinda bibadde gguluggulu yonna gye baatambulidde nga kubaddeko n'emmotoka
za ambyulensi ezibadde zitambula okuyamba ababa bafunye obuzibu.

Olwaleero ku Lwokutaano gwe mukolo omutongole ogukomekkereza okutambula nga gwakubeera Birembo mu Kakumiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...