
Bebe Cool ng'ali ne Minister w'ebyobulamu Dr Ruth Aceng
MOSES SSALI amanyiddwa nga Bebe Cool era nga Ambasada wa TB mu Uganda asisinkanye minisita w'ebyobulamu, Dr. Ruth Jane Aceng n'abamu ku bakungu ba minsitule abalala okutma empenda ku ngeri ki gye bagenda okwogera amaanyi n'okutema empenda ez'okulwanyisa ssaako n'okumanyisa abantu ku kawuka ka TB.
Minisita abadde n'abamu ku bakungu ba minisitule eyo okuli, Dr Richard Kabanda nga ye kaminsona avunaanyizibwa ku bujjanjabi obwa bulijjo n'omumyukawe, Dr Stavia Turyahabwe era nga y'akulira ekitongole ekilwanyisa akawuka ka TB (akafuba) n'ebigenge (Leprosy).
Mu bingi bye twogedde ne minisita n'akakiiko ke tumuwadde ekirowoozo akitwale mu kabineeti gavumenti ekozese okulonda kwa 2021 ng'erimu ku makubo agasaanidde okuyitibwamu okumanyisa abantu ku by'obulamu"Bwatyo Bebe Cool bweyategeezezza
Nnina endowooza nti obukadde bw'ensimbi z'omuwi w'omusolo ezisasaanyizibwa mu kulonda okwa buli mutendera wabula ng'abantu abali wansi w'emyaka 18 abatalonda tebalina we baganyulirwa mu nsimbi zino.

Okutuukiriza kino, akakiiko k'ebyokulonda kandibadde kawaliriza buli yeesimbyewo okussa obubaka bwona obukwata ku kutumbula eby'obulamu ku bipande bye bakuba ne batimba mu bifo ebitali bimu.
Akakiiko era kandikolaganye ne minisitule y'ebyobulamu ne kategekanga ensiisira z'okujjanjaba endwadde ezitali zimu.
Abantu basobola okuganyulwa ennyo ne batakoma ku nkung'ana za byabufuzi zokka wabula ne badda eka nga balina obubaka bwe bafunye ku by'obulamu kubanga ne bannabyabufuzi beetaaga abantu abalamu.
Minisita ensonga agitutte nga nkulu wabula n'agamba nti yandibadde ekwatibwako amalwaliro agasookerwako mu bitundu (Health Centers) n'agamba nti okutumbula eby'obulamu tekitegeeza kuzimba bizimbe binene wabula nti okuziyiza obulwadde kye kisinga obukulu naddala nga bayitira mu kugema.

Ayongeddeko nti ebitundu 75 ku buli 100 ku ndwadde ezisinga okusumbuwa abantu mu Uganda okuli kkolera, omusujja, nimooniya, akafuba, ekiddukano, mukenenya n'endala nnyingi zisobola okuziyizibwa nga bayita mu kugena.
Minisita agambye nti singa twongera amaanyi mu kumanyisa abantu ku bulwadde ne kye basaanye okukola olwo amalwaliri gajja kuba nga tegakyetaagisa nnyo.
Wabula awadde amagezi nti essira tusinge kuliteeka ku basajja kubanga be basinga okubeera mu bulabe bw'okukwatibwa endwadde nga zino kubanga be basinga obukakanyavu mu buntu obutono ng'okunaaba mu ngalo n'okugenda okwekebeza endwadde.