TOP

Babakwasizza emirambo gy'abaafiiriddemu kizimbe

Added 10th January 2020

Ettaka bwe lyayiise, we nabadde waabadde wagulumivu kirabika kye kyannyambye kubanga nazzeemu okutegeera nga ndaba abantu bakungaanye.

 Owooluganda lwa Oburu eyafiiridde mu kizimbe ng’ayaziirana.

Owooluganda lwa Oburu eyafiiridde mu kizimbe ng’ayaziirana.

Bya HENRY KASOMOKO

RONALD Okoth kaawonawo ku bantu omukaaga abaafiiridde mu kizimbe ettaka bwe lyababuutikidde nga bazimba alojja engeri gye yasimattuse bwati.

"Twayingidde okuzimba wansi mu ‘go down' ku makya era twabadde tukyakola nga n'emboozi egudde amakerenda, ettaka ne libumbulukuka omulundi gumu ne litubuutikira.

Abamu omulimu baabadde baakagutandika nga bategeka madaala ag'okulinnyako okuzimba.

Ettaka bwe lyayiise, we nabadde waabadde wagulumivu kirabika kye kyannyambye kubanga nazzeemu okutegeera nga ndaba abantu bakungaanye.

Simanyi ngeri gye nasobodde kusimattuka kyokka emiti gyanguddeko ate ekitundu ekya wansi nakyo ng'ettaka likibisse. Abadduukirize abazze okutaasa baagisaze ne bataasa obulamu bwange.

 



Wansi mu kizimbe twabaddeyo abantu nga 30 era oluvannyuma lw'ettaka obumbulukuka abasinga baayambaganye ne bavaayo ate abalala abadduukirize be babasise mu ttaka ne batwalibwa mu ddwaaliro", Okoth bwe yategeezezza.

Agamba nti ku kizimbe kino babadde baakafunako omulimu nga babadde baakakolako ennaku bbiri zokka, n'ategeeza nti mukwano gwe Joseph Oburu eyafiiriddemu abadde yaakava e Tororo nga mu Kampala yatuuka ku Mmande.

Ku Lwokuna abooluganda lw'abantu abaafiiridde mu kizimbe kino lwe baabakwasizza emirambo gy'abantu baabwe ku ggwanika e Mulago.

Embeera yabadde ya maziga na biwoobe ng'abehhanda bazze ku ggwanika poliisi gye yabadde etutte emirambo era abasinga obwedda bakaaba balaajana olw'emyaka emimpi abaana b'abagenzi gye balina.

 

Abooluganda baasinze kunenya bannannyini mulimu guno nti enkuba erudde ng'etonnya n'ennyikiza ettaka ne balemwa okuzimba amayinja ku bbali w'ekizimbe ne bakkiriza abazimbi okukka wansi bagende mu maaso n'okuzimba kye bagamba nti kyabadde kikyamu.

Abasinga ku bagenzi babadde basibuka Tororo. Emirambo gy'abagenzi bagitisse ku mmotoka ne bagitwala e Tororo okuziika.

Abooluganda abamu baategeezezza nti amawulire g'okufa kw'abantu baabwe baagafunidde ku leediyo ne ttivvi n'abalala ne bagamba nti, abadduukirize abagudde ku masimu g'abagenzi be baabakubidde essimu okubabikira.

Abaafudde kuliko; Martine Owol, James Ocho, Nicholas Ocheng, Robert Oketch, Etiang Okongo ne Joseph Oburu, nga bano baggyiddwaayo poliisi ezikiriza omuliro eyakulembeddwaamu Hassan Kahinda amyuka dayirekita w'ekitongole ekizikiriza omuliro n'okudduukirira ababeera bagudde ku bibamba.

Kahinda yategeezezza nti, poliisi tennaba kukakasa kyavuddeko ttaka kubumbulukuka n'asuubiza nti, abaserikale abakugu bagenda kunoonyereza ekyavuddeko ettaka okutta abantu.

Abaasimattuse kuliko; Ronald Okoth omutuuze mu Mulimira zooni e Kamwokya n'abalala abataafunise mannya.

BAWADDEYO BUKADDE OKUZIIKA

Oluvannyuma lw'akabenje kano, bannannyini kizimbe omwafiiridde abantu bano omukaaga, baagenze ku ggwanika e Mulago ne boogereganya ne ffamire z'abagenzi okulaba bwe batambuza emirambo n'okukola ku kuziika. Buli ffamire y'omugenzi baagiwadde ssente 2,500,000/- okukola ku by'okuziika byonna.

Ffamire ezimu ssente zino tezaabasanyusizza nti, abamu ku bagenzi babadde empagi luwaga mu ffamire zaabwe era okufa kwabwe balese eddibu ddene mu bulamu bwa ffamire zino obw'omu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu