TOP

Nnabe agudde mu bwakabaka bw'e Bungereza

Added 11th January 2020

NNABE agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza, Omulangira Harry bw’akubye Kkwiini Elizabeth II obwami n’ategeeza nga ye ne mukyalawe, Omumerika Meghan Markle bwe bagenda okweyambula obuvunaanyizibwa bwe balina okutuukiriza nga ab’olulyo Olulangira abali ku mwanjo, basobole okwekolera ebyabwe beeyimirizeewo awatali kulindirira ssente ziva wa jjajjaabwe, Kkwiini.

 Harry ne Meghan

Harry ne Meghan

Yayongeddeko nti ayagala batandike okubeeranga mu Canada nga e Bungereza bajjayo bwe kiba kyetaagisizza.

Ekimu ku bisinze okwewuunyisa Abangereza kwe kuba ng'obubaka bw'okusenguka baabutadde ku mikutu gy'amawulire nga tebamaze kwebuuza wadde okutegeeza ku jjajjaabwe, Kkwiini ate nga ye kitaabwe, Charles ne mukulu waabwe William baabategeezezzaako ng'ebula eddakiika 10 zokka okubifulumya era wadde baabawadde amagezi obutakikola tebaabawulirizza.

Ekyebuuzibwa kiri nti omulangira omulamba lwaki yandyagadde okuleka ejjaliiri n'ebitiibwa by'Obulangira okuli n'omusimbi agende atobe n'ensi ng'anoonya ssente okweyimirizaawo?

Omulangira Harry w'asaliddewo okweyambula obuvunaanyizibwa n'ebimu ku bitiibwa by'Obulangira, agende atobe n'ensi, ng'ayita mu kiseera kizibu n'abaamawulire b'azze yeemulugunyaako nti bamukonjera n'okumuwandiikako obubi nga kwe batadde okumulondoola buli wamu era mu ngeri etali ya bulijjo mu October w'omwaka oguwedde yatandika okuloopa emikutu gy'amawulire egy'enjawulo ng'abalanga okumulebula.

Okumanya ng'embeera esusse ku Mulangira, gye buvuddeko yatuuka n'okutegeeza nga bw'atayinza kukkiriza ffamire ye kufuna buzibu nga obwo nnyina, Omumbejja Diana bwe yafuna, obw'okumulimirira n'okumulondoola ekyavaako okufiira mu kabenje mu kibuga Paris ekya Bufalansa mu 1997 bwe yali adduka papalazi eyali ayagala okumukuba ebifaananyi.

"Twagala nnyo okusigala nga tuweereza Kkwiini wa Bungereza, kyokka kino twagala tukikole nga twetongodde," Harry bwe yategeezezza mu bubaka bwe yaweerezza.

Abangereza ekisinze okubaleeta emitaafu kwe kuba nti Harry, w'akubidde Kkwiini obwami nga waliwo n'Omulangira omulala, Andrew, muganda wa Charles gwe baakambula ebitiibwa olw'okweyisa mu nneeyisa eweebuula ekitiibwa ky'Olulyo Olulangira.

Bagamba nti Harry naye bw'aneeyambula obuvunaanyizibwa ng'obufuzi bwa Kkwiini bwolekedde akatyabaga sinakindi n'okusasika.

Ekirala ekibaluma kwe kuba nti wadde Harry ayagala Kkwiini alekere awo okumuwa ssente ezibadde zimusasulwa olw'obuvunaanyizibwa obwo kyokka ayagala asigaze ezo eziva mu nsawo ya kitaawe Charles era asigale ng'aweebwa obukuumi nga Omulangira nga buno busasulirwa muwi wa musolo mu Bungereza.

Kino Abangereza bakitapuse nti ayagala yeeyambule obuvunaanyizibwa kyokka asigale ng'afuna ssente n'ebitiibwa kye bawakanya nga bagamba nti obulangira obeera olina emirimu gy'olina okutuukiriza nga tewali ngeri gy'osobola kuba mulangira wa kitundu ng'ekitundu ekirala kyeyisa nga muntu waabulijjo.

Harry atutte ekiseera nga si musanyufu era ne ku kabaga ka Ssekukkulu akategekebwa Kkwiini buli mwaka mu lubiri lwe Sandringham teyalabikayo. Olunaku yalumala ne nnyina wa mukyala we ayitibwa Doria Ragland.

Okuva lwe yasalawo okuwasa Omumerika alimu omusaayi gw'Ekiddugavu Meghan Markle, Harry abadde ayita mu kaseera kazibu olw'Abangereza abamu ababadde bamuboola era bwe baazaala omwana waabwe asooka, Archie, waliwo katuuni eyakubibwa ng'eteekeddwako akakookolo ku mutwe akalaga wansi omulangira, kyokka ng'omutwe gwa zzike, ekyayoleka obusosoze.

Waliwo n'amawulire agazze gafulumira ku mikutu gya Bungereza nga Daily Mail nga galaga nti abalangira Harry ne William babadde baafuna obutakkaanya nga kigambibwa nti bwava ku kuba nti William yali alabudde Harry nti atwale okubuulirirwa kwa nnyaabwe, aleme kupapirira kuwasa Meghan, ekyanyiiza Harry.

Kyokka abalala bagamba nti mukyala we Meghan y'amuwaga kubanga ye sereebu era muzannyi wa firimu ayagala obutaala bw'atafuna mu lulyo olulangira lwa Bungereza.

Abalala bagamba nti batunuulidde musimbi gwe boolekedde okufuna nga bavudde mu lulyo olulangira ne beetandikirawo ekyabwe kye baatuumye Sussex Royals abamu kye batidde nti kiringa ekitandikawo olulyo olulangira olulala.

Wadde baasaba mu December okuwandiisa ekintu kyabwe kino kye baatuuma Sussex Royals, tekinnakkirizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...