TOP

Kkwiini munyiivu

Added 11th January 2020

AMAWULIRE ga Daily Mail gaategeezeezza nti Kkwiini si musanyufu ku ngeri Harry gye yeeyisizzaamu.

Kyokka ensonda mu Lubiri zigamba nti Kkwini yayise olukiiko olw'amangu era n'alagira omulangira Charles okukakasa nti agonjoola ensonga za Harry mu bwangu nga bamuwa ebintu eby'enjawulo kw'aba alonda ky'akkaanya nakyo mu kifo ky'ekyo kye yabadde asazeewo ne mukyala we Meghan eky'okweyambula obuvunaanyizibwa.

Kigambibwa nti Harry yayitiddwa mu lubiri lwa Kkwiini ku nsonga eyo kyokka ye mukyalawe Meghan yavudde dda mu Bungereza n'addayo e Canada gy'ayagala okubeera yeetegula ekibabu ky'Abangereza abataamye obugo nga bamulumiriza okulalula n'okwonoona omwana waabwe Harry.

Meghan abadde yaakamala ennaku ssatu mu Bungereza nga bava e Canada gye baabadde ne bba mu biseera by'ennaku enkulu.

Ekiraga nti bazze nga beetegese kuddayo Canada gye baagala okubeera kwe kuba nti omwana waabwe Archie ow'emyezi omunaana tebazze naye, baamuleseeyo e Canada era Meghan gwe yazzeeyo okusanga n'aleka Harry nga yeezooba n'olulyo olulangira era n'Abangereza ku kukusalawo kwabwe okubeekutulako.

Ebirala ebizze binyiiza Omulangira Harry

Okuva Harry lwe yasalawo okuwasa omukazi Omumerika ate nga Muddugavu waliwo Abangereza bangi be kitaasanyusa.

Waliwo n'ebifaananyi ebyafulumizibwa amawulire ge Bungereza ku nkomerero y'omwaka oguwedde nga biraga nti omulangira Harry yali waamukaaga mu lunyiriri lw'abantu abaali balindiridde okulya Nnamulondo ya Bungereza era kino ne bakigattako ekifaananyi ky'abantu bana bonna abasinga okuba ku mwanjo mu lulyo olulangira lwa Bungereza, Kkwiini, Charles, William ne mutabaniwe George.

Harry azze yeemulugunya mu buto bwe bwe yali aweza emyaka 12 nga nnyina afudde bwe yatambuzibwa akabanga ng'agenda awerekera omulambo gwa nnyina ng'abantu bukadde na bukadde abaali basimbye ku mabbali g'ekkubo n'abalala abaali bamulabira ku ttivvi nga bamwegese amaaso nga bw'akungubagira nnyina kyamukosa nnyo ne kimuleetera okwennyika mu bwongo okutamuvangamu era yategeezezza nti okusigala ng'akola emirimu egyo gye yeeyambudde kyandiddamu okumukosa mu birowoozo ne mu bwongo.

Embeera eno agamba nti buli lwagijjukira alabira ddala nga tebaamuyisa bulungi era agamba nti si kya bwenkanya ku mwana omuto okukimukola.

Harry 35 ne Megahan 38 baludde nga beetegekera okwekutula ku lulyo olulangira era baatuuka n'okuwandiisa n'okuggulawo omukutu gwa yintaneeti ogwabwe bokka gwe baawandiisa nga tebategeezezza ku Kkwiini.

Ensonda era zigamba nti Harry azze yeemulugunya nti obuvunaanyizibwa obubaweebwa ng'abalangira bwetaaga okukyusaamu okutuukana n'omulembe ate babeere nga basobola okufuna obudde obukola ebintu ebyabwe ku bwabwe.

Kyokka kino Abangereza bakiwakanya nga bagamba nti obulangira tebubeera bwa kyeyagalire nti osobola okubeera Omulangira nga totwaliddeeko buvunaanyizibwa bugenderako.

Ekirala, kigambibwa nti era abooluganda Harry ne mukulu we William, tebakwatagana nga Harry afunye Meghan n'ayanguyiriza okumuwasa so nga nnyabwe yali abawabudde nti beekkenneenyanga abakyala bwe bandituusizza okuwasa ne batagwa mu nsobi nga ye ze yali afunye ne Charles.

William okufumbirwa Kate yali amaze emyaka kumpi musanvu nga akyamwekkaanya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...