TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyagenze okubanja bamukubye essasi ne limuyuza ekisambi!

Eyagenze okubanja bamukubye essasi ne limuyuza ekisambi!

Added 12th January 2020

EYAWOLA ow’ebbaala bamukubye essasi bw’agenze okubanja ssente ze. Essasi lyamuyuzizza ekisambi nga kati apooca n’ekiwundu mu ddwaaliro e Mulago.

 Kyolaba gwe baakubye essasi ng’agenze okubanja.

Kyolaba gwe baakubye essasi ng’agenze okubanja.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, Immaculate Kyolaba Nakalema 31, omutuuze w'e Kikubamutwe okumpi ne Kabalagala mu munisipaali y'e Makindye bwe yakubiddwa essasi.

Omusajja eyakubye Kyolaba essasi olwamalirizza n'alinnya ppikipiki n'abulawo.

Kyolaba agamba nti yawola mukwano gwe Annet ssente obukadde bubiri kyokka aludde nga buli lw'amusaba amusasule amuwoleza jjo jjuuzi naye kwe kusalawo ku luno amulumbe. Kyolaba musibi wa nviiri.

Poliisi y'e Kabalagala yatuuse ku bbaala eno we baakubidde Kyolaba essasi n'emuggyawo n'emutwala e Mulago.

Kyokka tewali gwe yakutte kuba yasanze ne bannannyini bbaala baggaddewo nga badduse ekibambulira.

Kyolaba gwe twasanze e Mulago ku kitanda yagambye nti yabadde akyabanja Annet ssente ze, omusajja eyabadde mu bbaala kyokka ng'ayambadde engoye eza bulijjo n'asikayo bbaasitoola n'amukuba essasi ku kisambi.

Kyolaba we baamukubidde essasi, yabadde akangudde ku ddoboozi olwa Annet okwongera okumubuzaabuza.

"Olwamaze okunkuba essasi nneewaludde ne nfuluma ebbaala olwo nnannyini bbaala n'agoba bakasitoma abaabadde bakyanywa omwenge n'ekyaddiridde kwe kuggalawo bonna ne badduka ne bandeka awo," Kyolaba bwe yategeezezza.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti omusajja eyakubye Kyolaba essasi yadduse naye bamunoonya.

Owoyesigyire era yagambye nti ne nnannyini bbaala awaabadde akavuyo yaggaddewo n'adduka kyokka n'awera nti tajja kugumaza mbiro.

"Tulinze Kyolaba atereeremu atunnyonnyole ebyabaddewo kyokka bonna abeetaagibwa bajja kukwatibwa." Owoyesigyire bwe yawunzise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...