TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lukululana eremedde omugoba waayo n'eyingirira amaduuka ku Musanvu ku Mbuzi

Lukululana eremedde omugoba waayo n'eyingirira amaduuka ku Musanvu ku Mbuzi

Added 12th January 2020

LUKULULANA ebadde ettise bbuliti eremedde omugoba waayo bw'egaanye okusiba n’eyingirira ekikomera n'amaduuka n’ekutukamu ebitundu bisatu ddereeva wayo n'atwalibwa mu ddwaliro ng'embeera mbi.

Lukululana eyakoze akabenje n'ekutukamu ebitundu 3. EBIFAANANI BYA MOSES LEMISA

Lukululana eyakoze akabenje n'ekutukamu ebitundu 3. EBIFAANANI BYA MOSES LEMISA

LUKULULANA  ebadde ettise bbuliti  eremedde omugoba waayo bw'egaanye okusiba n'eyingirira ekikomera n'amaduuka n'ekutukamu ebitundu bisatu ddereeva wayo n'atwalibwa mu ddwaliro ng'embeera mbi.

Akabenje  kaaguddewo mu kiro ekyakeesezza ku Ssande  ssaawa 8  ku mayiro 7 ku luguudo lw'e Gayaza ku Mbuzi, lukululana nnamba UAB 285Z eyabadde evugibwa Antony Agadde ng'ettise bbuliti ng'eva Rukungiri bwe yatuuse ku 7 n'egaana okusiba n'ekola akabenje n'ekutukamu ebitundu tu 3 dereeva n'atwalibwa mu ddwaliro lya Doctor's Medical Centre e Mpererwe ng'ataawa.

Helen Kankwase  nnannyini bbuliti yategeezezza nti Agadde  yasimbula e Lukungiri ku Lwokutaano wabula bwe yatuuka mu Nyendo e Masaka mmotoka ne mufaako nasooka agikanika nga yatuuse e Kyanja  ku kibanda ssaawa 6 ez'ekiro ku Lwomukaaga nasimba mmotoka.

Alex Katamba eyabaddewo yategeezezza nti lukululana eno yavudde e Kyanja ng'eri ku misinde egya yiriyiri ng'obuzibu bwavudde kugaana kusiba nesalamu mu luguudo n'ekuba ekikomera omutendekebwa abasirikale ba securiko butcher n'edduuka eritunda engoye ,

Owa tulafiki eyabaddewo yategeezezza nti baasobodde okufuna ebiwandiiko bya  ddereeva kwe yatikkidde embaawo kyokka ebirala byatwaliddwa abadduukirize ababbye n'engoye ezaabade mu dduuka eryatomeddwa.

 Edduuka ly'engoye erimu ku gakooneddwa

 ankwase nnanyini bbuliti ezaabadde ku lukululana eyakoze akabenje Kankwase nnannyini bbuliti ezaabadde ku lukululana eyakoze akabenje

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...