
John Lubega eyabadde agabanyizza ekibanja kya muganda we eyafudde ng'akudde empaanyi ze yabadde asimbye
Bya Saul Wokulira
Omukadde amaaso gamumyuuse ab'obuyinza bwe babadde bamukunya olw'okwegabanya ekibanja n'aleka namwandu ne bamulekwa mu maziga.
Bino bibadde ku kyalo Kisawo mu Kayunga Town Council mu disitulikiti y'e Kayunga.
John Lubega, y'atuuyanye nga bwe zikala ofiisa alondoola ebintu by'abafu e Kayunga, Collins Kafeero bw'abadde amusoya kajojijjogi w'ebibuuzo lwaki yeegabanyizza ekibanja kya muganda we, Godfrey Luwunge eyafiiridde mu bikujjuko by'okuyingira omwaka omupya.

Kafeero atugambye nti, Lubega akkirizza nga bwe yakola ensobi era yeetondedde namwandu Justine Nabukeera n'empaanyi ze yabadde asimbye n'azisimbulamu.
Lubega olwamaze okuziika muganda we yatandikiddewo okunoonya abagula ekibanja era yagenze n'akisalaasalamu n'empaanyi ne yeegabirako ekitundu n'abaana be abamu ku baana b'omugenzi baaviiriddemu awo.
Oluvannyuma yalagidde Nabukeera okufulumya engugu n'abaana abataafunye abatwale kubanga tebaafaanana mugenzi era balabika si babe.

Namwandu Nabukeera yadduse mu ofiisi ya Kafeero eyagenze ku kyalo ensonga ne bazituulamu era okukkakkana nga Lubega yeetondedde namwandu n'empaanyi ze yabadde asimbye ng'agabanya ekibanja n'azikuulayo.
Kafeero alabudde bonna abeewa obuyinza ne badobonkanya ebintu by'abafu n'okubigaba nga tebafunye lukusa okuva ew'avunaanyizibwa ku bintu by'abafu kubanga bw'anaabakwatako kaakubajjuutuka.
Oluvannyuma lw'okukuula empaanyi yalinnye pikipiki ye ne banne ne yeeyongerayo.