TOP

Ow'emyaka 90 akkukkulumidde poliisi lwa ttaka

Added 13th January 2020

Mwanje yagambye nti baludde nga bagugulaana ne mukulu mune Christopher Keezala gw’alumiriza okumuwendulira batabani be ne basaawa emmere ye n’ebikajjo. Agamba nti ayolekedde okufa enjala kubanga talina kyakulya.

 Mwanje gwe basaayidde emmere.

Mwanje gwe basaayidde emmere.

 
 
Bya Rosemary Nakaliri
 
 
Boaz Mwanje Kiggundu 90  ow'e Katete - Kabembe, Kyampisi mu disitulikiti y'e Mukono akkukkulumidde poliisi y'e Nagalama gy'agamba nti temuyambye ng'abantu basaawa olusuku lwe wamu ne ssamba y'ebikajjo.
 
Mwanje yagambye nti baludde nga bagugulaana ne mukulu mune Christopher Keezala gw'alumiriza okumuwendulira batabani  be ne basaawa emmere ye n'ebikajjo. Agamba nti ayolekedde okufa enjala kubanga talina kyakulya.
 
Mwanje agamba nti waliwo abantu bano bwe baamulumba ne bamutegeeza nga bwe basaaye emmere nga omulundi oguddaako bajja kusaawa ye.
Yagambye nti batuuse n'okumwewanirako nga bwatalina kyayinza kubakola ekitadde obulamu bwe mu katyabaaga.
 
Ssentebe w'ekitudu Geofrey Lukwago avumiridde ekikolwa kino era n'alabula abasaawa emmere y'omukaddde nti tagenda kusa mukono okutuusa nga poliisi ebakute n'ebaggalira.
 
Yagambye nti bwe banaakwatibwa ajja kusaba ab'amateeka babalagire okuliyirira omukadde kubanga bamuyisa bubi okutema emmere ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo