TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba UPDF abaatwalibwa e Somalia tebanasasulwa musaala

Aba UPDF abaatwalibwa e Somalia tebanasasulwa musaala

Added 13th January 2020

AMAGYE gatangaazizza nti kituufu abamu ku bajaasi ba Uganda abaatwalibwa e Somalia okukuuma emirembe tebanasasulwa musaala gwabwe lwa kuba ekibiina ky’amawanga amagatte (AU) ekirina okugusasula tekinawereza ssente.

Omwogezi w'eggye lya UPDF Brig. Richard Karemire yakakasizza bino n'agamba nti okusindika amagye e Somalia kyakolebwa mu ngeri eraba  ng'omuwi w'omusolo wa Uganda ssi ye yeyetikka omugugu gw'okusasulira okubeerayo kwabwe.

N'agamba nti amagye ga Uganda agali e Somalia galina kusasulirwa kibiina ky'amawanga amagatte ekya UN n'eky'omukago gwa Afrika ekya African Union.

Kino kidiridde Pulezidenti wa FDC Patrick Amuriat okwemulugunya nti ekibinjq ky'amagye ga Uganda ekyagenda e Somalia ekya Ungu5 ekirimu abajaasi nga 530 tekinaba kusasulwa nsimbi za kugendayo.

Era n'asaba ekitongole ky'amawanga amagatte okussa akazito ku UPDF okusasula abajaasi bano.Yemulugunyizza nti waliwo n'ensimbi eziwera ddoola 270 ezitamanyiddwa kye zikola ezibasalwako n'endala ddoola 70 ezibasalwako nti za kugula yinifoomu.

N'agamba nti buvunaanyizibwa bwa FDC okulaba ng'amagye ne poliisi biyisibwa bulungi wadde ebitongole byombi bizinya ab'ekibiina kino n'ab'oludda oluvuganya oluguje.

Yagambye nti FDC ekimanyi nti abajaasi oba aba poliisi ssekinomu ssi be baabagala okubatulugunya wabula bakikolera ku biragiro bya bakama baabwe.

Kyokka Karemire yagambye nti ensonga z'abajaasi ba Uganda abali e Somalia zoogeddwaako okumala ebbanga era ne zitwalibwako ne mu palamenti.

N'agamba nti ensimbi ezisalwa ku bajaasi zikola ku bintu ebitali bimu ebibaawo ng'eggye terinatandika mirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...