TOP

Emmotoka y'amafuta ekoze akabenje e Bwaise

Added 13th January 2020

WABADDEWO akasattiro ku luguudo lwa Northern Bypass e Bwaise, emmotoka y’amafuta ga petulooli bw’eremeredde omugoba waayo n’ekola akabenje. Kigambibwa nti emmotoka eno, lukululana nnamba 2F 1032 okukola akabenje, kiddiridde okwekanga ddereeva wa boodabooda abadde ava e Namugoona okudda e Bwaise. Okusinzira ku babaddewo, bagambye nti, owaboodabooda ne ddereeva w’emmotoka y’amafuta bonna babadde bavugisa kimama.

 Abantu n'abaserikale nga bali awabadde akabenje.

Abantu n'abaserikale nga bali awabadde akabenje.

Bya REGINAH NALUNGA

WABADDEWO akasattiro ku luguudo lwa Northern Bypass e Bwaise, emmotoka y'amafuta ga petulooli bw'eremeredde omugoba waayo n'ekola akabenje.

Kigambibwa nti emmotoka eno, lukululana nnamba 2F 1032 okukola akabenje, kiddiridde okwekanga ddereeva wa boodabooda abadde ava e Namugoona okudda e Bwaise.

Okusinzira ku babaddewo, bagambye nti, owaboodabooda ne ddereeva w'emmotoka y'amafuta bonna babadde bavugisa kimama.

bantu nga bakungaanidde awaabadde akabenje e waiseAbantu nga bakung'aanidde awaabadde akabenje e Bwaise.

 

Ow'emmotoka mu kugezaako okuwugula owaboodabooda, emmotoka emuwabyeko n'atomera ebyuma ebyawula oluguudo lwa Northern Bypass. Wabula owa boodabooda n'omusaabaze gw'abadde aweese basimattuse n'ebiwundu ebitonotono.

Bano batwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi ng'embeera mbi. Ddeereva w'emmotoka eyakoze akabenje naye yalumiziddwa mu mbirizi.

Kigambibwa nti emmotoka eno yabaddemu amafuta ng'egatwala ku luguudo lw'e jinja, abantu bagezezzako okubba amafuta wabula poliisi y'ebidduka okuva e Kawempe n'etuuka mu bwangu n'ezza embeera mu nteeko. 

Abakolera ku luguudo luno, bagambye, obubenje bususse ku luguudo luno kubanga tekuli bugulumu kuziyiza bubenje. We basabidde poliisi okwongera abaserikale ku luguudo kubanga lukozesebwa abantu bangi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu