TOP

Ssente zitabudde Kalifah Aganaga ne Chris Johnz

Added 13th January 2020

Ssente zitabudde Kalifah Aganaga n’omuyimbi Chris Johnz baawukanye nga babigwo wakati mu kwerangira.

 Kalifah (ku kkono) ne Chris Johnz

Kalifah (ku kkono) ne Chris Johnz

Entabwe evudde ku  Chris Johnz abamu gwe bamanyi nga Luwero Sojah okulumiriza Kalifah Aganaga abadde akola nga maneja we nti abadde akuba enjawulo ku ssente ze bamusasula okuyimba.

Leero Chris Johnz afulumiza ekiwandiiko mu butongole ng'asazaamu endagaano gye yakola ne Bad Character ekibiina kya Kalifah Aganaga ekibadde kivunaanyizibwa ku kumutumbula ng'omuyimbi n'okumufunira bizinensi.

Mu kwogera ne Bukedde agambye nti abadde tayinza kugumikiriza Kalifah amaze ebbanga ng'amubba ssente era yaamenya dda endagaano gye bakola.

"Oyo Kalifah ssente zange abadde azikwatamu. ab'ebivvulu abampangisa okuyimba basasula nddala naye eno ayanjula nddala kyokka ku ntono ezo zayanjudde kw'ayagala okuggya omugabo gwe nga maneja ne weesanga nga kumpi nyimbidde bwerere.

Ate bwe tudde ku ky'okutumbula ennyimba kino kyo kyamulema. Ebbanga lye mazze naye kumpi nze abadde ateekamu ssente zange ate ye nalemwa n'okutuukiriza omulimu gwe nga maneja kato omuntu ng'ono atalina kya nyamba sikyayinza kukola naye" Chris Johnz bwagasseko.

Kalifah amwambalidde.

Ng'ayankula ku nsonga eno, Kalifah agambye nti ekitabudde Chris Johnz talina waaka, okuyimba akwesibyemu naye nga si muyimbi.

"Kale abantu bazibu. Oyo omusajja mukulu nnyo, tamanyi kuyimba, mufubyeko naye biganye ate kati anenya nze mu kifo kya ye okwenenya.

Bano be bantu bulijjo be twogerako abeesibye ku muziki naye nga si bayimbi. Omulimu gwange nga maneja ngukoze nfubye okumutumbula naye kirabika abantu bbo bagaanye okumusiima obutali buzibu bwange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...