TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatadde ssente mu Harvest Money Expo basaze emiwendo gy'ebyamaguzi byabwe

Abatadde ssente mu Harvest Money Expo basaze emiwendo gy'ebyamaguzi byabwe

Added 13th January 2020

ABATADDE ssente mu mwoleso gwa Harvest Money bakunze abantu okweyiwa mu bungi mu kisaawe e Namboole mu mwoleso guno olw’ebirungi entoko bye bagenda okugufunamu.

Akulira Vision Group, Robert Kabushenga ng'ayogera mu kutongoza omwoleso gwa Harvest Money Expo 2020. Omubaka waNetherlands mu Uganda,Henk Van Baker  ne Mathias Katamba maneja wa DFCU.

Akulira Vision Group, Robert Kabushenga ng'ayogera mu kutongoza omwoleso gwa Harvest Money Expo 2020. Omubaka waNetherlands mu Uganda,Henk Van Baker ne Mathias Katamba maneja wa DFCU.

 

ABATADDE ssente mu mwoleso gwa Harvest Money bakunze abantu okweyiwa mu bungi mu kisaawe e Namboole mu mwoleso guno olw'ebirungi entoko bye bagenda okugufunamu.

Omwoleso guno gutegekebwa kkampuni ya Visio Group etwala ne Bukedde ne gussibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, Engineering Solutions, Champrisa International, dfcu bank, aBi Development Ltd ne Akvo International.

Gwakutandika nga February, 14 okutuusa nga 15 mu kisaawe e Namboole ng'okuyingira 10,000/- buli lunaku ate okwetaba mu misomo osasula 20,000 nga gutandika ssaawa 2:00 ez'oku makya okutuusa ku 1:00 eya kawungeezi.

Robert Kabushenga akulira Vision Group akunze abantu bonna okweyiwa mu kisaawe e Namboole okuyiga n'okwegulira ku by'amaguzi ebinaaleetebwa aboolesi kuba bangi ku bagenda okwolesa bagenda kusala ku bbeeyi.

"Twagala okwebaza abateeka ssente mu mwoleso guno kuba kitusobozesa okuleeta abantu bonna abaliko bye bakola mu bulimi n'obulunzi ku buli mutendera. Bw'ojja mu mwoleso, buli kibuuzo kyonna ky'obeera nakyo oddayo ng'ofunye okuddibwamu kuba buli mukugu abeera mu mwoleso guno", Kabushenga bw'agamba.

Ono agamba nti abaneetaba mu mwoleso guno basuubire ekisingawo kuba buli mwaka oguddako Vision Group ng'eri wamu n'abavujirizi bayiiya ekisingawo.

"Omwaka oguwedde twafuna abantu 28,000 mu mwoleso nga omwaka guno tusuubira abantu abasoba mu 35, 000. Eno y'ensonga lwaki twetegese bulingi nga n'abavigirizi kwossa abanaayolesa balina okwetegera abantu abagenda kugenda ku midaala gyabwe okulaba nga balina ebintu ebimala okuguza n'okulaga abantu abagenda ku midaala gyabwe", Kabushenga bw'agambye.

Omubaka wa Budaaki mu Uganda Henk Van Baker agamba nti ku mulunzi guno, ekibanja kyabwe mu mwoleso (Netherlands Village), kigenda kubeera kisava era nga mulimu eby'okuyiga n'okugula bingi ddala era nga kkampuni 48 ezigenda okwetaba mu mwoleso guno ezinaabeera mu kibanja kyaffe nga ku zino 16 zaakuva butereevu Budaaki ate endala 32 ziva kuno.

Christopher Magezi okuva mu Champrisa International, agamba nti abalunzi bajje mu mwoleso nga bazze kugula kuba bagenda kusala emiwendo gy'ekirungo ky'emmere y'ebinyonyi n'ensolo esinga omutindo mu nsi yonna ekya Hundrix ebitundu 25 ku 100.

Med Mwiri kitunzi wa Engineering Solutions (ENGSOL), agamba nti bagenda kusala ku beeyi ya tulakita ebitundu 15 ku 100 ku bantu abanaagula tulakita zino mu nnaku essatu omwoleso ze gugenda okubeerawo ate babateereemu akuuma akazirondoola ku bwereere kwossa walanti ye myaka ebiri.

Mathias Katamba akulira banka ya dfcu, agamba nti ku mudaala gwabwe baakussawo abakugu abanatendeka abanabakyalira enkwata ya ssente eziva mu ffaamu zaabwe okubasobozesa okuzifunamu.

Febron Ntale okuva mu Akvo International Ltd abatuusa ebyuma ebikozesebwa mu kufukirira agamba nti okufukirira kati kyetaago eri abalimi b'abalunzi ababukola nga bizinensi. Tugenda kusala ku beeyi y'ebyuma byaffe ebitundu 50 ku 100 eri abo bonna abanajja ku mudaala gwaffe ne batugulako ebyuma era nga tulina ebikozesa yingini, amasannyalaze g'enjuba n'ebikozesa emikono.

Francis Chesang okuva mu aBi Development Ltd, ekitongole kya gavumenti ekyassibwawo okuyamba okutumbula obulimi n'obulunzi okuyita mu magoba, ennyingiza n'okukulaakulanya abalimi ba Uganda ne bizinensi eziri mu bulimi n'obulunzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu