TOP

Fr Lokodo awadde Paasita Bugingo ekiragiro

Added 14th January 2020

Fr Lokodo awadde Paasita Bugingo ekiragiro

 Paasita Bugingo ne Fr Lokodo

Paasita Bugingo ne Fr Lokodo

MINISITA w'empisa n'obuntubulamu Faaza Simon Lokodo alagidde Paasita Aloysius Bugingo yeeyanjule mu ofiisi ye leero, ku Lwokubiri, amunnyonnyole lwaki avvoola ebirayiro by'eddiini eby'obufumbo n'okutyoboola empeta.

Amulabudde nti bw'alemwa okumunnyonnyola okumumatiza ku nsonga eno yandiwaliriza Bugingo ave ku bwapaasita kubanga kijja kuba kyeyoleka nti akolerera kuwabya bantu.

Bino Faaza Lokodo yabitegeezezza Bukedde n'agamba nti ye eyasoma Bayibuli Matayo 19:4-6 ayogera ku bufumbo nti; n'addamu n'agamba nti Temusoma nti oyo eyabakola olubereberye nga yabakola omusajja n'omukazi, 5 n'agamba nti Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu? 6 obutaba babiri nate, naye omubiri gumu.

Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu. Yagambye nti yeewuunya Bugingo okuba ng'agenda atambuza obubaka obwawula mu bantu naddala abafumbo.

Ebigambo bya Bugingo ebizze bitabula bannaddiini ne minisita atuuke okumuyita abitebye yabitandika ekiseera ekiyise wabula yabizzeemu ku nkomerero ya wiiki ewedde n'agamba nti Bayibuli agisomye emirundi gy'atamanyi muwendo kyokka talabangamu lunyiriri nga Katonda agamba nti abafumbo kufa kwe kulibaawukanya. Yasoose kutaputa byawandiikibwa ng'avumirira empeta.

Guno si gwe mulundi ogusoose nga Bugingo ayogera ebikontana, yasooka kutyoboola Bayibuli n'ategeeza nti gye basoma erimu ennyiriri enfu n'alagira abagoberezi be okugisuulawo n'abawa z'ayita entuufu.

Kyokka Canon Augustine Magala Musiwuufu eyali Ddiini wa Lutikko e Namirembe nga kati yawummula, yategeezezza Bukedde nti Bayibuli teyogera ku buli kintu ekyetaaga okwogerwako, kubanga ssinga buli kimu baakiwandiika yandikaluubiridde omuntu okugisoma.

"Ekkanisa ebeera n'ennono zaayo era ebeera n'enkola yaayo ng'omukkiriza ateekwa okugigoberera. Ssinga Bugingo alitegeera amakulu g'empeta naye alitandika okugissaamu ekitiibwa," Musiwuufu bwe yategeezezza. Rev. Abel Sserwanja Merewooma, Omusumba w'ekkanisa ya St. Stephen's Kamuli Kireka:

Bugingo waddembe okwogera ky'ayagala kubanga alina ky'ayisaawo naye ssinga abadde yeetegerezza bulungi si buli kigambo kye twogera mu kamwa kaffe nti kyawandiikibwa. Yokaana bwe yali amaliriza bye yawandiika yagamba nti ssinga buli kintu kyawandiikibwa ekitabo tekyandiweddeyo.

Waliwo ebintu bye tuyingiramu ng'endagaano ya Bwakatonda, Malachi 2:14 kubanga Mukama yabeeranga mujulirwa eri ggwe nga walagaana naye… era teyakola mulala newankubadde nga yalina omwoyo ogwafikkawo.

Ebigambo ebirala Mukama yennyini abyogera mu Malachi 2:16 kubanga nkyawa okugoba abakazi … Malachi atugaana okukuusakuusa omukazi ow'obuvubuka bwo. Kati omusuulawo ani abeera amulera?

Endagaano gye wakola naye yali ya Bwakatonda era wagikola nga Omutukuvu, kati olwo munnanffe ayagala kutugamba nti teyalagaana era endagaano gye yakola yagikola nga ani? Abakolinso ekisooka 7:39; Omukazi asiba omusajja we bw'abanga akyali mulamu. Bw'abeera ng'afudde olwo abeera wabusa n'alyoka afumbirwa.

Era ne ku musajja bwekityo. Rev. Can. David Kaleebu Bamulanzeeki omuwandiisi w'Obulabirizi bwa Central Buganda: Ekibi nti abantu abamu bakeera ku makya ne beerangirira nti basumba so ng'abalala bagenda mu matendekero ne bakuguka mu by'eddiini.

Olubereberye 2:24 y'ensibuko y'obufumbo ate Matayo 19:6 atugamba nti Katonda kye yagatta awamu tewali alikigattulula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapoliisi nga balawuna mu Kampala.

Okunoonyereza kulaze ebibul...

OKUYITA mu kunoonyereza kwa Vision Group etwala ne Bukedde, Bannayuganda balaze ebyokwerinda n’obutebenkevu bwe...

Nakibinge

Kasikonda amusse ayigga kalulu

KASIKONDA akutte eyeesimbyewo ng'anoonya akalulu n'aziyira. Amulumye okumala ennaku nnya ng'assiza ku byuma oluvannyuma...

Abasawo nga bassa omwana mu ‘incubator’

Bafunye ebyuma ebibikka abaana

OMUWENDO gw'abaana abafa nga tebannatuusa myezi 9 (kwe balina okuzaalibwa) mu disitulikiti y'e Kamuli, Buyende...

Katuukiro (owookubiri ku ddyo), Polof Kisambira (akutte akazindaalo) ne baminisita ba Busoga.

Kyabazinga akungubagidde Ntalo

KYABAZINGA wa Busoga William Wilberforce Nadiope IV akungubagidde Vincent Ntalo Kakete taata wa Katuukiro we, Dr....

Nassimu Kyazike.

'Muntaase munponye okusula ...

OMUSERIKALE wa UPDF abafere gwe baalimba okuguza enju ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu n'okumubbako obukadde...