TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ettaka lubuutikidde ababadde basima omusenyu e Kayunga

Ettaka lubuutikidde ababadde basima omusenyu e Kayunga

Added 14th January 2020

Ettaka libumbulukuse ne liziika abantu ababadde mu kirombe nga basima omusenyu.

Omuntu omu afiiriddemu ate abalala babiri baavuddeyo nga bakyali balamu.

Entiisa eno egudde ku kyalo Bukujju mu ggombolola y'e Kayunga mu disitulikiti y'e Kayunga.

Afudde ye Ronald Musiini era y'abadde akola nga maneja mu kirombe kino.

Wabula abatuuze batabukidde poliisi olw'okukeerewa okutuuka era basanze n'omulambo baguzinze era yagujjewo n'egutwala okwekebejjebwa.

Abatuuze bwebaalabye nga poliisi ekeereye ne batandika okuyikuula ettaka okujjayo omulambo gw'omusajja ogwabadde guwagamidde mu mafunfugu.

Akulira ba mbega ba poliisi e Kayunga Isaac Mugera agambye nti banoonyereza wabula n'asaba abatuuze okukwatagana ne poliisi kijanguyize okubuuliriza.

 

alt=''

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...