TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutabani w'akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw'akutta eyali muganzi we

Mutabani w'akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw'akutta eyali muganzi we

Added 14th January 2020

Mutabani w'akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw'akutta eyali muganzi we

 Brian Bagyenda abagambibwa okutemu eyali muganzi we n'afa omulambo gwe ne gusangibwa mu kibira e Namanve

Brian Bagyenda abagambibwa okutemu eyali muganzi we n'afa omulambo gwe ne gusangibwa mu kibira e Namanve

MUTABANI wakulira ekitongole ekikkesi ekya ISO, Brian Bagyenda agaanye okwewozaako mu kkooti mu musango gw'okutta muganzi we Enid Twijukye.
 
Bagyenda aleteddwa mu kkooti enkulu okunnyonnyola ebyaliwo kyokka looya we Nsubuga Mubiru  n'ategeeza omulamuzi  Moses Kazibwe Kawumi nti basazeewo Bagyenda asirike era talina kyagenda kunyonyola kkooti.
 
Omulamuzi asoose kumunnyonnyola engeri 3 mwasobola okuyita okwewozaako omuli okusooka okulayira, obutalayira oba okusirika natabaako kyayogera ye kwekulondako ekyokusirika.
 
Ategeezezza nti yadde nga asazeewo kusirika agenda kuyita abajulizi 3 okuli muganda we Frances Nantamu n'omusawo we ddwaliro e Butabika Dr. Brian Mutumba okumuwolereza era balage ne kkooti nti yalina ekikyamu ku mutwe.
 
Wiiki ewedde omulamuzi Kazibwe yalagira Bagyenda yewozaako oluvanyuma lwokuwulira obujulizi bw'abntu 16 nga bwonna bulumika Bagyenda nti yeyatta Twijukye nga amutebereza okubaayo n'omusajja omulala.
 
Okusinziira ku bujuliz bw'oludda oluwaabi Bagyenda yayambibwako banne Vicent Rwahirwe ne Innocent Bainomugisha nga bano bebasiba Twijukye emiguwa ne "soloteepu" ku miwa olwo Bagyenda namuttisa "piro" gyeyamunyiggiriza mu feesi nalemwa okussa.
 
Twijukye yafiira ku mwayak 22 mu January 2017 era yali asoma ku yunivasite e Ndejje. Omulambo gwa Twijukye poliisi yagusanga mu kibira kye Namanve nga gutandiise okuvvunda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...