TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte abatemu n'eboogeza gye baasudde omulambo gw'omusuubuzi

Poliisi ekutte abatemu n'eboogeza gye baasudde omulambo gw'omusuubuzi

Added 14th January 2020

Poliisi ekutte abatemu n'eboogeza gye baasudde omulambo gw'omusuubuzi

Mutebi Gugu eyattiddwa

Mutebi Gugu eyattiddwa

Bya Stuart Yiga
 
Poliisi ekutte abasajja babiri ku by'okuwamba era ne batuga omusuubuzi, abadde amanyiddwanga, Ronald Mutebi Gugwa, omutuuze w'e Walusubi-Mukono.
 
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwatiddwa agamba kuliko; Bamwine Alex amanyiddwanga-Felix Kainerugaba, ne Emmanuel Kalema.
 
Kigambibwa nti omugenzi baamusanze mu Kampala, ne befuula abaagala okumutwalako kyokka olwakkirizza baamwefulidde n'ekigendererwa eky'okumubbako ssente.
 
Poliisi ategeezezza nti abakwatiddwa babasanze ku luguudo lwa Masaka olukadde, nga bayambibwako kkamera zebassa ku nguudo.
 
Bano okusinziira ku Poliisi bakkirizza okutta Mutebi, nti era oluvannyuma omulambogwe ne bagusuula emabbali w'oluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi, mu katawuni k'e Kyetume.
 
Baabadde batambulira mu mmotoka njeru ekika kya Mark II, namba UAR 066B.
Omugenzi era abadde n'amaka amalala ku mwalo gw'e Ssenyi, mu ggombolola y'e Ssi, mu disitulikiti y'e Buikwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....