TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Harry ne Meghan baddukidde kkooti okwetangira abaagala okubatta

Harry ne Meghan baddukidde kkooti okwetangira abaagala okubatta

Added 15th January 2020

ENSASAGGE yeeyongedde mu Bwakabaka bwa Bungereza Omulangira Harry ne mukyala we Meghan Markle bwe bagenze mu kkooti okwetangira abantu be bateebereza okubaviirako obuzibu obuyinza okubatta nga bwe batta Omumbejja Diana, maama wa Harry.

 Meghan ne Harry

Meghan ne Harry

LONDON, Lwakubiri

ENSASAGGE yeeyongedde mu Bwakabaka bwa Bungereza Omulangira Harry ne mukyala we Meghan Markle bwe bagenze mu kkooti okwetangira abantu be bateebereza okubaviirako obuzibu obuyinza okubatta nga bwe batta Omumbejja Diana, maama wa Harry.

Ng'ebizibu ebikyabuzizzaako Abangereza amagezi ku ky'okukolera Harry eyasazeewo okwabulira obwakabaka bwabwe yeekolere bizinensi ng'omuntu waabulijjo tebinnaba
kunogerwa ddagala, Harry ategeezezza nga nnyina bwe yattibwa mu bugenderevu bwatyo n'asalawo okutandika okwerwanako ne mukyala we baleme kufuna buzibu.

Diana yafira mu kabenje ka mmotoka mu kibuga Paris ekya Bufalansa nga August 31, 1997 ddereeva we bwe yali ku sipiidi ng'adduka bannamawulire abaali baagala okukuba omumbejja oyo ebifaananyi ng'ali ne muganzi we Faye Dodi ow'e Misiri.

 kuva ku kkono kwiini wa ungereza lizabeth  mulangira harles eghan ne bba arry ate iddleton ne bba illiam wamu nabaana baabwe Okuva ku kkono: Kkwiini wa Bungereza, Elizabeth II, Omulangira Charles, Meghan ne bba Harry, Kate Middleton ne bba William wamu n'abaana baabwe.

 

Obwakabaka bwa Bungereza bwali bunyiikaavu olw'Omumbejja ono okugenda n'omusajja Omusiraamu ate ng'avudde mu Africa ekyaleetera bannamawulire
okwagala okukakasa Abangereza nti ebya Dodi bituufu nga babalaga ebifaananyi.

Okubeekweka, mmotoka yali ku misinde n'etomera empagi y'ekkubo Omumbejja n'afa ng'atwalibwa mu ddwaaliro.

Kati Meghan Markel pulaani y'okuwona okuttibwa ne bba mu ngeri etategeerekeka yagitandise na kuwawaabira bannamawulire abamaze ebbanga nga babawandiikako ebintu bye bagamba nti balinnyirira eddembe lyabwe n'okubalondoola ekisusse.

Yasoose kuwawaabira aba Mail on Sunday e Bungereza olw'okufulumya ebbaluwa 
gye yawandiikira kitaawe eyali eraga obutakkaanya bwe baalina naye.

Meghan ne kitaawe Thomas abeera e Los Angeles eky'essaza ly'e California mu Amerika balina obutakkaanya obuva ku kitaawe oyo obutamufaako nga muto ate n'ayagala okumufunamu bwe yatunda ebifaananyi bya muwala we nga muto
eri bannamawulire bwe yali akoze erinnya ng'agenda okufumbirwa Harry ku mbaga eyamenya n'emiti mu Bungereza mu 2019.

Embaga eyo Thomas teyagyetabaako lwa butakkaanya obwo.

 eghan ne kitaawe homas ngakyali muto Meghan ne kitaawe Thomas ng'akyali muto.

 Harry yalangidde abantu abeeyita ababalumirirwa ne babagobereranga ne mukyala we mu buli kye bakola nti ne bwe baba mu bulumi beefuula abalumwa ng'ate beenoonyeza byabwe.

Bino we bijjidde nga Harry asattiza Obwakabaka bwa Bungereza bwe yasazeewo abwekutuleko ate ne bisajjuka nga jjajjaawe, Kkwiini Elizabeth II agezezzaako okumuwooyawooya kyokka n'abigaana.

EBIMU KU BIRUMA HARRY:

Bannamawulire e Bungereza baakomezzaawo okwogera kwa mwannyina wa Diana
nga September 6, 1997, mu lumbe olwali ku Westminster Abbey. Mwannyina Earl Spencer yategeeza abakungubazi nti:

Diana afudde akakasizza nti yali teyeetaaga ngule ya Bwakabaka bwa Bungereza
okubeera ky'abadde.

Yazaalibwa n'omutima omugabi, okwagalibwa abantu n'ebirala era omutima ogwo gujja kusigalawo mu bantu be bonna n'abaana be bano abato abatudde wano.

Awo yali agamba Abalangira, Harry ne mukulu we William abaali abalenzi abato mu budde obwo.

 Yamaliriza agamba nti ffe ab'omusaayi gwo tujja kusigala nga tukola kyonna ky'obadde olowooza okukola nga bw'obadde okyagala n'obutalekerera baana bo bano kwemalira bwemalizi ku bya bulombolombo na nnono.

We yafiira, Diana yali yekokkola ab'amawulire n'ekwe eziri mu bamu ku bantu mu bwakabaka obwo be yalowoozanga nti tebamwagala.


Yali adduse n'e Bungereza ng'akyalayo bukyazi okuva eyali bba, Omulangira Charles lwe yaddira Camilla Parker agambibwa nti yali yamwagalako nga tannalaba Diana kyokka bwe baayawukana n'akuba akaddanyuma.

 mumbejja iana maama wa arry Omumbejja Diana, maama wa Harry.

 

Ekyasinga okumuluma nti ekyokumuddira ne Kkwiini yakimanyako.

Olukiiko lwa Kkwiini okuwooyawooya Harry teruvuddemu kalungi:

lBwe byatuuse awo, jjajja wa Harry, Kkwiini Elizabeth II n'atuuza olukiiko azuule ekituufu ekiruma muzzukulu we bakimalirize.

Eby'embi amawulire agaavudde mu lukiiko olwabadde olwekyama gaalaze ng'okukkaanya bwe kwalemye olwo Kkwiini n'alagira muzzukulu we akole by'ayagala wabula mu bwegendereza.

lBaakoze ne pulogulaamu Harry kw'alina okutambulira si kumala gadduka mu Bwakabaka.


lAbangereza bangi baalaze okutabulwa mu biwandiiko ebyafulumiziddwa ng'olukiiko luwedde kubanga baalaze nti agenda kusigala ng'abategeeza ku by'aba agenda okukola ate ne balaga nti baamukkirizza agende ate ng'ekyatuuzizza olukiiko kumulaga kabi akali mu kwesala ku nteekateeka z'Obwakabaka.

lOlukiiko olwatudde ku Mmande lwetabiddwaamu ne kitaawe wa Harry, Omulangira Charles ne mukulu wa Harry, William era nga bwe bagoberegana bwe bagenda okuba nga batuula ku nnamulondo ya Bungereza nga Kkwiini afudde.

lNga bafudde, abaana ba William abasatu b'azaala mu Kate Middleton nabo balina okugituulamu omu ku omu nga bwe baddiringana. Kino kitegeeza nti Harry n'omwana we omu gwe yaakazaala mu Meghan Markel tebalina mukisa ku bya nnamulondo. Kino
abalengerera ewala bagamba nti kye kimu ku bizze bitabula Harry olw'obutalabawo mukisa.

 ange over egambibwa nti arry mwe yabadde ngayingira lubiri okuteesa ne kwiini ayise mmanju wlubiri Range Rover egambibwa nti Harry mwe yabadde ng'ayingira Olubiri okuteesa ne Kkwiini. Yayise mmanju w'Olubiri.

 


Akamu ku bulombolombo mu bwakabaka bwa Bungereza obw'omuntu alina omukisa
gw'okutuula ku nnamulondo ye Kkwiini okukakasa omukyala gw'awasa.

Alina n'okukakasa nti omukyala Mungereza, Mukulisitaayo n'ebirala omuli n'amaka mwe yakulira. Ku Harry bino tebyaliwo kubanga n'omukyala gwe yawasa yamugya mu famire erimu enkaayana ate ng'omuwala alimu obuddugavu.


lKkwiini yafulumizza ekiwandiiko ekitongole ng'ategeeza nti wadde ayagala Omulangira ne mukyala we okukola emirimu gyabwe egy'Obwakabaka, awa ekitiibwa
endowooza ya Harry ey'okusengukira e Canada atandike obulamu obugya.

lEkirala ku biruma Harry ze ssente z'agamba nti takkirizibwa kwekolera zize ne mukyalawe kubanga bali mu lulyo Olulangira kyokka ate olulyo terumuwa zimala.

 maka arry ne eghan ge basuubirwa okubeeramu e ananada Amaka Harry ne Meghan ge basuubirwa okubeeramu e Cananada.

 



lMu bimu ku by'ayagala mwe muli n'okuzimba eddwaaliro mu Afrika alibbulemu
amannya ga maama we, Diana Princess of Wales.

Wabula waliwo abali mu lulyo lwa Bungereza Olulangira abakissa ku Meghan Markle nti ye yasinga okwonoona Harry gw'ayagala bagende mu Hollywood mu Amerika omukyala oyo gye yali azannyira firimu batandike okuzannya beefunire ssente.

Bwe batandika okukola ekyo mu Universal Studios (Hollywood) mu kibuga Los Angeles mu ssaza ly'e California mu Amerika, ssente bajja kuyoola njoole era bye bigendererwa bya Meghan.

Abangereza balowooza nti yali nsobi okuwasa Omumerika kubanga essaawa eno Meghan ali mu kusattiza nsi yonna.

 wiini eghan ne arry gye buvuddeko Kwiini, Meghan ne Harry gye buvuddeko.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...