TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakomando ba Amerika balojja engeri gye baasimattuse mizayiro za Iran

Bakomando ba Amerika balojja engeri gye baasimattuse mizayiro za Iran

Added 15th January 2020

BAKOMANDO ba Amerika balojja engeri y’ekyewuunyo gye baasimattuse mizayiro za Iran mu bulumbaganyi obwakoleddwa ku nkambi zaabwe mu Iraq nga Iran yeesasuza olw’okuttibwa kwa munnamagye waayo Genero Qassem Soleimani.

 Bakomando ba Amerika nga beetegereza ekimu ku bifo ebyakubiddwa mizayiro za Iran.

Bakomando ba Amerika nga beetegereza ekimu ku bifo ebyakubiddwa mizayiro za Iran.

BAGHDAD, Lwakubiri

BAKOMANDO ba Amerika balojja engeri y'ekyewuunyo gye baasimattuse mizayiro za Iran mu bulumbaganyi obwakoleddwa ku nkambi zaabwe mu Iraq nga Iran yeesasuza olw'okuttibwa kwa munnamagye waayo Genero Qassem Soleimani.

Amagye ga Iran ag'omu bbanga nga gakolera ku biragiro by'omukambwe waayo, Ayatollah Ali Khamenei gaakoze ennumba ez'omutawaana za mirundi ebiri ku nfo za Amerika mu Iraq ne zikubwako mizayiro n'ebikompola ebyazirese nga ziwomoggoddwa.

Obulumbaganyi obwasoose bwakoleddwa mu kiro ekyakeesa Olwokusatu oluwedde ku nkambi za Amerika bbiri; ey'e Ain al-Asad mu ssaza ly'e Anbar n'etterekero ly'ebyokulwanyisa erisangibwa mu kitundu ky'e Erbil. Enfo zombi zaakubiddwako mizayiro 22.

Amerika yabadde ekyalowooza nti Iran ekkakkanye, ate mu kiro ekya Ssande, ebikompola munaana eby'ekika kya katyusha enkola ya Russia ne bikubwa ku nkambi
y'amagye ga Amerika eyitibwa Balad Joint airbase, eyeesudde mayiro 50 mu bukiikakkono bw'ekibuga Baghdad.

Ennumba za Iran nga zaakabaawo,Pulezidenti Trump yasoose kwekaza nti bumizayiro
bwabwe tebulina kye bwakoze era obumu n'okwabika tebwayabise.

Noolwekyo Iran yamaze biseera.

Wabula ebifaananyi eby'enkambi Ain al-Asad, emu ku zaakubiddwa mizayiro za
Iran ebyafulumiziddwa biraga agawonko aganene agaasimiddwa mu nkambi eyo n'ebizimbe ebyayokeddwa omuliro n'okusaanyizibwawo.

Bakomando ba Amerika abaasangiddwa mu nkambi mu kiseera mizayiro we zaakubiddwa baategeezezza nti Katonda yababisseeko obusubi okuba nti bakyali balamu.

Lieutenant Colonel Staci Coleman atwala enkambi y'e Al-Asad yategeezezza nti abajaasi ba 1,500 be baasangiddwa mu nfo eyo kyokka beewunya nti tekuli n'omu yattiddwa mizayiro okuggyako munnaabwe omu eyafunyeemu okwekanga mu mutima olw'omusinde gwa mizayiro.

Coleman yagambye nti essaawa zaabadde mu 4 ez'ekiro ekyakeesezza Olwokusatu, obudde ne budda ku bunnaabwo, mizayiro ne zitandika okuyiika wabula ekyabayambye obutatuusibwako buzibu, baabadde bafunye okulabulwa okuva mu bakama baabwe mu Amerika era bonna baabadde mu mpuku wansi mu ttaka.

Omukutu gw'amawulire ogwa AFP gwategeezezza nti amagye ga Amerika galina okwebaza Katikkiro  wa Iraq, Adil Abdul-Mahdi al-Muntafiki kubanga ye yatemezza
ku Amerika ku bulumbaganyi buno nga tebunnabaawo.

Munnamagye Lt. Col. Antoinette Chase yategeezezza nti bwe baabatemezzaako nti Iran etegeka okubalumba, abajaasi bonna ne bayingira empuku era eyo gye baasuze ekiro kyonna.

Kyokka omusinde gwa mizayiro za Iran gwayuguumizza ettaka n'empuku zaabwe mwe beekukumye ne ziggyamu enjatika.

Mu nkambi ya Al-Asad, Iraq yakubamu mizayiro 17 era zaawomoggola agannya mu nkambi wamu n'okukoleeza omuliro ebimu ku busulo by'abajaasi n'okusaanyawo ezimu ku mmotoka ne konteyini ezeebikozesebwa.

Staff Sergeant Armando Martinez yategeezezza nti bwe baafuna okulabulwa, ne basengula ebimu ku bintu ebyomugaso omuli n'ennyonnyi nnamunkanga musanvu.

Yagambye nti mizayiro za Iran zaasanyizzaawo ebiyumba ebinene bibiri omusimba
ennyonnyi wamu ne sitoowa ez'ebyuuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....