TOP

Olutalo nga KCCA egoba abafumbira mu ppaaka

Added 15th January 2020

EKITONGOLE kya KCCA kigobye ababadde bafumbira emmere mu ppaaka enkadde n’okutunda ebintu nga bagamba nti babadde bakikola mu bukyamu.

 Tolina gy’obitwala: Omuvubuka eyakwatiddwa ng’abba ebintu by’abasuubuzi, baamukubye ne babimusuuza.

Tolina gy’obitwala: Omuvubuka eyakwatiddwa ng’abba ebintu by’abasuubuzi, baamukubye ne babimusuuza.

Bya Eria Luyimbazi ne Ponsiano Nsimbi

EKITONGOLE kya KCCA kigobye ababadde bafumbira emmere mu ppaaka enkadde n'okutunda ebintu nga bagamba nti babadde bakikola mu bukyamu.

Abaserikale ba KCCA nga bali ne poliisi ku Lwokubiri baakedde kumenya ebimeeza abantu kwe babadde batundira ebintu n'okuwanulayo weema ezibadde zikola ng'ebirabo by'emmere.

Baagenze okutuuka mu kifo kino, baasanze abakyala abakeera okufumba ekyenkya batandise okugabula bakasitoma baabwe ne babawambako ssigiri, emmeeza n'ebibookisi kwe babadde batundira.



Abasuubuzi baagambye nti poliisi teyasoose kubalabula era baafiirwa ebintu byabwe bingi.

Baagambye nti bwe baabadde babagoba baabategeezezza nga ssigiri bwe ziyittiridde mu ppaaka kye baagambye nti kyabulabe. Kyokka baakukkulumidde KCCA okubagoba ng'ate baasasula layisinsi ebakkiriza okukolera mu kifo kino.

John Paul Agaba okuva mu ofiisi y'omwogezi wa KCCA yagambye nti baasazeewo okugoba abafumba emmere oluvannyuma lw'oku kizuula nti okufumbira mu kifo kino
kyabulabe kuba kiyinza okuvaako akabenje.

Yagambye nti ppaaka erimu emmotoka ezikozesa amafuta nga kiba kyabulabe okuliraana omuliro kwe kusalawo okubagoba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba Ruparelia Foundation ba...

Ekibiina ky’obwanakyewa ekya ‘’Ruparelia Foundation’’ kidduukiridde abaana mu ddwaliro e Mulago bwe kiwaddeyo...

Donald Trump ne Biden bavum...

DONALD TRUMP, Pulezidenti wa Amerika, ne gwe bavuganya, Joe Biden bavumaganidde ku ttivvi bwe babadde bakubaganya...

Mao

MAO alangiridde okwesimbawo...

PULEZIDENTI wa DP Nobert Mao asekeredde abanene ba DP abaayabulidde ekibiina kino ne beegatta ku ky’omubaka Robert...

Chalemeon ng'awaga oluvannyuma lw'okumala okwewandiisa. Ebifaananyi bya STUART YIGA

Yadde mwannyimye kaadi naye...

Omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleon, y'omu ku baasunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda okuvuganya...

Sodo ne Shartsi

Muwala wa Kuteesa agaanyi o...

Muwala wa minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa amanyiddwa nga Shartsi Musherure Nayebare agaanye okukkiriza...