TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka bamwanjulidde katikkiro w'amasiro omuggya

Kabaka bamwanjulidde katikkiro w'amasiro omuggya

Added 15th January 2020

KABAKA Ronald Mutebi II alagidde Abaganda okukola n’obumalirivu okulaba ng’amasiro g’e Kasubi galabirirwa n’okukulaakulanyizibwa ku mutindo gw’ensi olw’okukuuma ennono n’ebyobuwangwa. Bino yabyogeredde mu Lubiri e Mmengo bwe yabadde ayanjulirwa katikkiro w’amasiro gano omuggya, David Nkalubo ku Lwokusatu nga January 15, 2020 n’agamba nti amasiro gano galaga ekitiibwa kya Buganda, obugunjufu n’obuzira.

Kabaka (wakati) ng'ali ne  Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga (ku kkono), Omukulu w'ekika ky'Omusu Omutaka Muyingo, katikkiro w'amasiro omuggya Nkalubo, katikkiro w'ekika ky'Omusu, Zizinga n'abataka abalala nga bali mu Lubiri e Mmengo.

Kabaka (wakati) ng'ali ne Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga (ku kkono), Omukulu w'ekika ky'Omusu Omutaka Muyingo, katikkiro w'amasiro omuggya Nkalubo, katikkiro w'ekika ky'Omusu, Zizinga n'abataka abalala nga bali mu Lubiri e Mmengo.

 

KABAKA Ronald Mutebi II alagidde Abaganda okukola n'obumalirivu okulaba ng'amasiro g'e Kasubi galabirirwa n'okukulaakulanyizibwa ku mutindo gw'ensi olw'okukuuma ennono n'ebyobuwangwa.

Bino yabyogeredde mu Lubiri e Mmengo bwe yabadde ayanjulirwa katikkiro w'amasiro gano omuggya, David Nkalubo ku Lwokusatu nga January 15, 2020 n'agamba nti amasiro gano galaga ekitiibwa kya Buganda, obugunjufu n'obuzira.

"Amasiro ga Bassekabaka ag'e Kasubi n'amalala gonna gatulaga ekitiibwa kya Buganda, obugunjufu, obuzira n'obumalirivu Bassekabaka bwe baalaga nga bazimba n'okulwanirira Obwakabaka.

Naffe nno tulina okukola n'obumalirivu okulaba ng'amasiro gano tugalabirira, tugakuuma n'okugakulaakulanya. Amasiro gano n'amalala, bifo bya bulambuzi era ebisobola okuyingiza ensimbi mu ggwanga lyaffe." Kabaka bwe yalagidde.

Kabaka yeebazizza katikkiro w'amasiro gano eyawummudde, Ssaalongo Herbert Mulumba olw'obuweereza obulungi n'abo b'abadde aweereza nabo. 

Mu kunoonya katikkiro omuggya, Kabaka yategeezezza nga bwe yayita Omutaka Samuel Bulega Muyingo (Omukulu w'ekika ky'Omusu), John Luswata- Taata wa Nnabagereka (kati omugenzi) ne Dan Ssebuggwawo mu Lubiri e Bbanda, omwaka oguwedde ne boogera ku ngeri amasiro gano gye gayinza okuteekebwa ku ddaala ery'enjawulo era n'abeebaza olw'omulimu omukulu gwe bakola.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yategeezezza nga Nkalubo bw'ajjidde mu kiseera ng'abantu bonna mu Buganda baagala omulimu gw'amasiro guggwe era nabo nga Kabaka be yagukwasa, baagala guggwe naye gutambulira mu mitendera era mu bbanga ttono okusereka kunaaba kutandika.

"Ssaabasajja Kabaka olubiri lw'e Kasubi Nabulagala, lwe lubiri olukyaliwo olwazimbibwa mu nnono, obuwangwa ne tekinologiya owaffe ow'ekinnansi omulimu ogwakolebwa Katikkiro Mukasa Nsimbe muzzukulu wa Muyingo. Kasubi aggyayo ekifaananyi eky'obusobozi n'obugunjufu bwa bajjajjaffe mu kiseera abeeru we bajjira mu nsi eno. Ate amasiro g'e Kasubi ge gokka mu Buganda awagalamidde Bakabaka abasukka mu omu noolwekyo kifo kikulu mu buwangwa bwaffe," Mayiga bwe yategeezezza.

Omutaka Muyingo eyawerekeddwaako katikkiro we, Hajji Ashadu Zizinga n'abamu ku bazzukulu yeebazizza Kabaka olw'okumussaamu obwesige era n'amutegeeza nti omuntu gw'amuleetedde amwesiga.

Mu kwogera kwe, Nkalubo yeeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa obumuweereddwa era nti si waakuswaza bajjajjaabe abaamusooka mu buvunaanyizibwa okusobola okutunda amasiro gano eri ensi yonna.

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...