TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Bannayuganda ababeera e Canada bategese 'Uganda Kwekwaffe'

Bannayuganda ababeera e Canada bategese 'Uganda Kwekwaffe'

Added 16th January 2020

BANNAYUGANDA abali e Canada bongedde amaanyi mu kaweefube okwagazisa bannaabwe ebikolebwa e Uganda n’okubategeeza nti bw’okomawo eka bisoboka.

 Kasim Ssali ssentebe wa Uganda Culture in diaspora omutegesi w’olukung’aana luno

Kasim Ssali ssentebe wa Uganda Culture in diaspora omutegesi w’olukung’aana luno

Kino bakikoze okuyita mu kutegeka olukung'aana lwe batuuma Uganda Kwe kwaffe. Olugenda okubeera mu kibuga Edmonton e Canada.

Kasim Ssali ssentebe wa Uganda Culture in diaspora omutegesi w'olukung'aana luno asinzidde ku ofiisi zaabwe ku MM Plaza mu Kampala n'ategeeza nti omwaka guno lugenda kubeera lwa mulundi gwakusatu.

Ssali agamba nti ye abadde e Toronto Canada okumala emyaka 12 ne Toronto emyaka 7 n'akizuula nti Bannayuganda bangi abali ebweru ng'abamu batya okudda eka wabula bwe babatwalira abantu abasobola okwogera gye bali, basobola okukyusa endowooza.

Abamu babeerayo nga paasipooti ziweddeko kyokka nga tebasobola kudda waka kuzizza buggya kyokka ng'abakugu abasobola okukikola babeera nabo naye nga tebakimanyi.

Omulundi guno bayise sipiika Rebecca Kadaga ye Mugenyi omukulu ate sipiika wa East Africa Martin Ngoga ye mwogezi omukulu.

Omubaka wa Uganda e Canada Alice Ochenge gwe bayise okuluggulawo era ayogerezeganye n'abantu okubannyonnyola ku bye balina okukola.

 

Okusomesa Bannayuganda abali eno ku bintu eby'enjawulo ng'okufuna obutuuze obw'emirundi ebiri. Kino kikolebwa okuyita mu kwolesa obuwangwa, okulaga eby'obulambuzi.

Harunah Mubiru ne Halima Namakula beebayitiddwa okusanyusa abantu era Ssali agamba nti okusanyusa abantu limu ku kkubo mwe bayita okubakung'aanya nga bwe basooka okukung'aaniranga ku lyato.

Ebyobuwangwa bayise Madru Serwadde owa BUCADEF ne Moses Katende annyonnyole abali ebweru ku mbeera y'okutandika emirimu.

Okwogera ku mbeera y'ebyobufuzi bayise Ababaka ba palamenti okuli Muhammed Nsereko (Kampala Central) ne Ibrahim Kasosi sentebe w'akakiiko ka COSASE mu palamenti babeeyungeko ku lwa April 10 ne 11 balambike ensonga.

Ssali agamba nti ye sentebe w'ekibiina kya Uganda Culture in diaspora era mufumbo alina omukyala n'abaana nga Bannayuganda abalala abali ebweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...