TOP

Gavumenti etandise okubangula abazimbi

Added 16th January 2020

GAVUMENTI etandise enteekateeka y’okubangula abazimbi abatalina buyigirize esobole okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu ggwanga n’okwewala abazimbi b’ekiboggwe.

 Katongole ng’asunsula mu bamu ku bazimbi abatalina biwandiiko e Ndoddo Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi.

Katongole ng’asunsula mu bamu ku bazimbi abatalina biwandiiko e Ndoddo Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi.

Bya PADDY BUKENYA

GAVUMENTI etandise enteekateeka y'okubangula abazimbi abatalina buyigirize

esobole okukendeeza ku bbula ly'emirimu mu ggwanga n'okwewala abazimbi b'ekiboggwe.

Mu kaweefube w'okulwanyisa ebbula ly'emirimu mu ggwanga, Gavumenti ng'eyita

mu minisitule y'ebyensimbi n'eyebyenjigiriza etandise omulimu guno.

Mu nkola etuumiddwa The Mason Ranking and Certification (TMRAC)

gavumenti ng' eyita mu Maganjo Insititute of Career Education

batandise okusunsula abazimbi abalina obumanyirivu mu kuzimba kyokka

nga tebalina mpapula za buyigirize oluvannyuma babawe empapula

z'obuyigirize n'okwongera okubawa obukugu obubabulamu.

 

Akulira enteekateeka eno, Christopher Ssemanda yategeezezza nti baakusunsulamu

abazimbi 700 okwetooloola eggwanga lyonna era nga batandikidde mu

disitulikiti y'e Mpigi n'okusunsula abazimbi 120 oluvanyuma bagende

e Wakiso ne mu Kampala.

 

Ssemanda yategeezezza nti enteekateeka eno egendereddwaamu kulwanyisa bbula

Lya mirimu era abazimbi abasunsuddwa baakutekebwa ku lulala lw'abakozi

abakugu kibanguyire okufuna emirimu mu kkampuni ez'enjawulo.

 Yasiimye gavumenti n'ekitongole kya Private Sector Foundation Uganda

Olw'okuvujjirira enteekateeka eno nga bayita mu Bbanka Yensi yonna.

 

Omuwandiisi wentekateka eno Katongole agambye nti okufuna abazimbi

bano bayita mu kibiina ekibagatta ekya MCAU era baakutalaaga eggwanga

lyonna mu bbanga lya myezi mukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba Ruparelia Foundation ba...

Ekibiina ky’obwanakyewa ekya ‘’Ruparelia Foundation’’ kidduukiridde abaana mu ddwaliro e Mulago bwe kiwaddeyo...

Donald Trump ne Biden bavum...

DONALD TRUMP, Pulezidenti wa Amerika, ne gwe bavuganya, Joe Biden bavumaganidde ku ttivvi bwe babadde bakubaganya...

Mao

MAO alangiridde okwesimbawo...

PULEZIDENTI wa DP Nobert Mao asekeredde abanene ba DP abaayabulidde ekibiina kino ne beegatta ku ky’omubaka Robert...

Chalemeon ng'awaga oluvannyuma lw'okumala okwewandiisa. Ebifaananyi bya STUART YIGA

Yadde mwannyimye kaadi naye...

Omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleon, y'omu ku baasunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda okuvuganya...

Sodo ne Shartsi

Muwala wa Kuteesa agaanyi o...

Muwala wa minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa amanyiddwa nga Shartsi Musherure Nayebare agaanye okukkiriza...